Amawulire

Omukugu alaze obukulu bw'ebitongole eby'enjawulo mu kutumbula eddembe ly'obuntu mu bakyala n'abavubuka

Omukugu alaze obukulu bw'ebitongole eby'enjawulo mu kutumbula eddembe ly'obuntu mu bakyala n'abavubuka

Robert Sebunnya mu suit ya blue wakati eyakoze okunoonyereza ku ku ddembe ly'obuntu
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Ebbanga lyekulungudde ng’ekitongole ky’ensi yonna ekya Amnesty International kiri ku mwanjo mu kulwanirira eddembe ly’obuntu ne demokulasiya okwetooloola eggwanga. 
Kyokka, okunoonyereza kulaga nti yadde ng’ekitongole kino kirina bye kituuseeko ebirabibwako wabula tekisobola kumalawo binyigiriza bannansi okuggyako nga kyegattiddwaako ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo n’ebyobwannakyewa.

Okunoonyereza kuno kwakoleddwa Robert Ssebunya, omusomesa w’ebyobufuzi mu yunivaasite e Nkumba era nga mukugu mu kunoonyereza nga kumutwalidde emyaka mukaaga mu lugendo lwe olw’okukoonola ddiguli eyookusatu eyitibwa PHD (Doctor of Philosophy) nga yakuguse mu ddembe ly’obuntu. Ssebunya agenda kutikkirwa ku Lwomukaaga nga October 24, 2026 ku yunivasite e Nkumba.

Ssebunya akubiriza ebitongole okulwanirira eddembe ly'abakyala n'abavubuka okwenyigira mu demokulasiya

Ssebunya akubiriza ebitongole okulwanirira eddembe ly'abakyala n'abavubuka okwenyigira mu demokulasiya


Agamba nti mu kunoonyereza kwe yakizudde nti Amnesty International yokka tesobola kulwanirira ddembe ly’abakyala n’abavubuka naddala ery’okwenyigira mu byobufuzi. 
Ssebunya okunoonyereza yakutadde mu nkola gye yatuumye ‘The Coalition Advocacy Sustainability Evidence (CASE) model’ eteeka essira ku bwerufu, okukuuma eddembe lya buli muntu okwenyigira mu byobufuzi, embalirira n’okuwa ekitiibwa eddembe lya bannamawulire, okukungaana n’okuteeka ebitongole bya gavumenti ku nninga okuwa embalirira.
Ssebunya era agamba nti Amnesty International erina okwongera okunyweza enkolagana yaayo n’ebitongole ebiri wansi ebirina okusomesa abantu ku ddembe lyabwe n’okugonjoola okusoomoozebwa kwabwe nga bakolaganira wamu ne gavumenti.
“Mmaze ebbanga ddene nga nnoonyereza kubanga kinkakatako ng’omusomesa w’ebyobufuzi okwegatta ku balala okutaasa eddembe ly’obuntu mu ggwanga,” bw’agamba
Tags: