Bya Joseph Innocent Ssenfuma
OMUVUBUKA kafulu mu kujingirira omukono gwa president Museveni n'agabira abantu emirimu n'okubaferako ensimbi emisango omunaana egibadde gimuvunanibwa agikirizza era omulamuzi wa kkooti ya Buganda rd Winne Nankya Jatiko amukalizze mu kabulamuliiro ebbanga lya mwaka gumu n'emyezi mukaaga..
Male Nicholas atemera mu gy'obukulu 27 omutuuze w'e Lubowa Nazziwa zooni Makindye Ssaabagabo yakirizza emisango munaana egyokwefuula kyatali, okufeera abantu n'okufuna ensimbi mu lukujukuuju nga kwogase okujjingirira omukono gwa president Museveni n'ogwa Ssabaminisiit nagaba emirimu eri abantu abenjawulo.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olubaddeko
Viola Tusiime emisango gino Male yagidizza mu Kampala mu bitundu byanjawulo mu 2025.
Male asazeewo nakirizza emisango gino era nakiriziganya n'oludda oluwaabi okumusalira ku kibonerezo olw'obutamalira kkooti budde mu nkola ya plea bargain era nasaba okumusiba ebbanga lya mwaka gumu n'emyezi mukaaga omulamuzi wa kkooti ya Buganda rd Winne Nankya Jatiko kyakoze wabula nga asoose kwagala butayingira mu kuwa Male kibonerezo nga ayagala omusangogwe gukolebweko mulamuzi mulala kubanga ye yakamalirizza emisango gya Male emirala musanvu mu mbeera yemu.