Amawulire

Ssenyonyi asabye Palamenti wabeewo ekikolebwa ku masannyalaze agavaavaako buli kadde

AKULIRA oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi, ayanjudde ensonga ya masannyalaze agavaako olutatadde n’asaba wabeewo ekikolebwa okumalawo okufiirizibwa mu Bannayuganda.

Ssenyonyi asabye Palamenti wabeewo ekikolebwa ku masannyalaze agavaavaako buli kadde
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

AKULIRA oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi, ayanjudde ensonga ya masannyalaze agavaako olutatadde n’asaba wabeewo ekikolebwa okumalawo okufiirizibwa mu Bannayuganda.

 

Asinzidde mu lutuula lwa palamenti leero ku Lwokubiri olukubiriziddwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa, n’ategeeza nti waliwo okwemulugunya mu bantu olw’amasannyalaze agagenda nga bwe gadda.

 

Kontulakiti ya UMEME  okubunyisa amasannyalaze mu ggwanga yaggwaako omwaka oguwedde nga bukya ekitongole kya UEDCL kikiddira  mu bigere abantu si bamativu n’empeereza yaakyo .

 

Abadde akyalambulula nti ku mbeera y’amasannyalaze mu ggwanga, omumyuka wa sipiika, Tayebwa n’amukomako.

 

Amutegeezezza nti ensonga z’amasannyalaze agatateredde mu ggwanga ziri mu kunoonyerezebwako akakiiko ka palamenti akalondoola ebya masannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka .

 

N’olwensonga eyo nga tebayinza kugenda maaso nakujikubaganyako birowoozo okwewala okusalirawo mu kuteebereza.

 

Ssentebe w’akakiiko akaakwasibwa omulimu, Dan Kimosho (Kazo) akakasizza sipiika nti banaatera okutuuka ku nkomerero y’okunoonyereza era n’asuubizza okwanjulira palamenti lipooti oba ebizuuliddwa ku mbeera y’amasannyalaze mu ggwanga wiiki ejja.

Tags:
Palamenti
Masannyalaze
Ssenyonyi