NNANNYINI Sky Pins Tours and Travels Christian Asiimwe 32, amanyiddwa nga Don Chris byongedde okumwonoonekera bwe bamusomedde omusango omulala nga kati giweze 568 egyekuusa ku kuggya ssente ku bantu ng'abasuubizza okubatwala ku kyeyo

Asiimwe nga yeebikkiridde masiki mu kaguli ka kkooti.ti Ya Cityhall (3)
Ahmed Lugoloobi eyakulembeddemu bannamateeka ba Don Chris yategeezeza kkooti nti amannya ga bawawaabira omuntu waabwe agamu bagaddamu mu fayiro ez'enjawulo ekiviiriddeko emisango okubeera emingi ekiswaziza erinnya ly'omuntu we naasaba kkooti emisango egyadibwamu bagimugyeko
Mu ffayiro empya eyaleeteddwa eraga nti nga February 26, 2024 ku Skypins e Nakawa Don Chris n'abalala abakyanoonyezebwa baggya obukadde 9 okuva ku Mark Musindi ng’amusuubizza okumutwala e Canada okumufunira omulimu.
Lugoloobi ategeezezza kkooti nti abawaabi abamu tebamanyikiddwa n’asaba omusango lwe guddamu okuwulirwa bajje n'ebiboogerako bwe balemererwa emisango gyona gigobwe era n’asaba kkooti Don Chris yeeyimirirwe
Omuwaabi wa gavumenti Grace Miriam Akite ategeezezza kkooti nti okusaba kwa munnamateeka wa Don Chris kugobebwe nti ensobi y'okuding’ana amannya ntono nnyo esobola okutereezebwa wabula nga abamuvunaana bangi
Ayongeddeko nti eky'okugamba nti baswaza omuwawaabirwa kkooti tennaba kumusingisa musango wabula gyamusomerwa
Omulamuzi wa kkooti eno Nicholas Aisu yagwongezzaayo okutuusa nga November 18 kkooti lw’enasalawo oba banaamweyimirira oba nedda.