Poliisi mu Kampala ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku bulagajjavu obuvudeeko abantu bana okufa n'abalala ne balumizibwa.
Abaafudde, kuliko David Okoth 25, Angella Inebe, 28 , Lucky Alaba 28 ne mutabani wa Alaba. Bonna baabadde munda mu nnyumba.
Nnyini nnyumba, Francis Ssenyonga afunye ebisago ne bamutwala mu ddwaaliro.
Kigambibwa nti enkuba ennyingi eyatonnye, yakulukusizza mukoka omungi okuva mu Delux Company n'asuula ekisenge ekikubye ennyumba bbiri abantu ne bafiiramu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyanoonyereza okuzuula oba wabaddewo obulagajjavu oba nedda.