WABADDEWO obunkenke ku kyalo Bugulube e Ssanga ekisangibwa mu ggombolola y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana, abazigu bwe balumbye omuwozi wa ssente (money lender) mu maka ge n’ekigendererwa ekitannamanyika kyokka olunaku lwe bamulumbye yabadde tasuze waka ng’obusungu bamutadde ku mukozi we wamu n’okwonoona ebintu by’omu nnyumba.

Ebimu ku bintu bye baayonoonye
Muno mubaddemu ttivvi, kkamera nazo baleese nga bazoonoonye n’okuzaasa era bano mu maka basanzeewo omukozi we ayitibwa Ibra Akandwanaho.
Akandwanaho agambye nti abavubuka abamulumbye babadde bana kyokka olwabadde okumutuukako batandikiddewo kumubuuza mukama we Chris nga bwe yabagambye nti taliiwo kyokka bazze n’ebisumuluzo eby’enjawulo nga mu kuyingira munda bamenye ddirisa olwo ne batandika okuggula buli luggyi.

Nuwagaba eyasimattuse abazigu.
Nuwagaba olwabitegedde yaddukiddewo ku poliisi y’e Matugga era poliisi nayo kye yakoze kwe kuleeta embwa yaayo ekonga olusu wabula embwa eremereddwa okuzuula abayinza okuba nga baakoze ekikolwa kino.
Nuwagaba ategeezezza nga bw’atayinza kumanya ba ani ababadde bamulumbye wabula nga ekyamuleetedde obutakomawo waka kye kyamuyambye kuba yabadde waakukomawo naye tamanyi naye kiki ekyamuwugudde n’atakomawo.

Amaka ga Nuwagaba ge baalumbye
Nuwagaa asabye poliisi emuyambe enoonyereze abayinza okuba nga baakoze ekikolwa kino.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala agambye nti abantu mu nnaku zino enkulu bandibadde beegendereza kuba ababbi bakozesa nnyo omukisa ogw’okubba abantu nga tebali waka kyokka n’asaba abatuuze okubeera abeegendereza nga batambula waakiri bafune omuntu gwe baleka awaka abayambeko okubeerawo okusinga okutambula ne basanga nga bababbye.