Amawulire

Ekitongole ekibaga n’okugolola ebigezo by’abasawo kyetaaga obuwumbi 100 okutumbula omutindo

EKITONGOLE ekibaga n’okugolola ebigezo by’abasawo ekya Uganda Health Professionals Assessment Board (UHPAB) kyetaaga obuwumbi obusoba mu 100 okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza by’abasawo abafulumizibwa ku mutendera gwa bannansi, abazaalisa, n’abakebera endwadde.

Ekitongole ekibaga n’okugolola ebigezo by’abasawo kyetaaga obuwumbi 100 okutumbula omutindo
By: Sharon Nabasirye, Journalist @New Vision

EKITONGOLE ekibaga n’okugolola ebigezo by’abasawo ekya Uganda Health Professionals Assessment Board (UHPAB) kyetaaga obuwumbi obusoba mu 100 okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza by’abasawo abafulumizibwa ku mutendera gwa bannansi, abazaalisa, n’abakebera endwadde.


Bino abaddukanya ekitongole babitegeezezza minisita w’ebyenjigiriza Dr. Muyingo bwe babadde batongooza enteekateeka nnamutaayika egenda okugobererwa mu myaka 5 egiddako (2025/26 - 2029/30).

Dr. Jc Muyingo Ng'assa Omukono Ku Nteekateeka Eyatongozeddwa.

Dr. Jc Muyingo Ng'assa Omukono Ku Nteekateeka Eyatongozeddwa.

Mu nteekateeka eno gavumenti esuubira nti ejja kusobola okufulumya abasawo abasobola okujjanjaba abantu ku ndwadde eziriwo n’ezinajja nga Munnayuganda teyeetaga kugenda bweru kufuna bujjanjabi obusingako.

 

Ssabawandiisi wa UHPAB, Hellen Mukakariisa Kataratambi agamba nti ekitongole kyetaaga obuwumbi nga 100 zibayambeko okutuukiriza enteekateeka eno etongozeddwa.

 

Mu nteekateeka eno basuubira okuzimbako ofiisi zaabwe, okussanga abayizi ku waadi z’abalwadde okukakasa nti ddala abayizi bano batuuka balyoke baweebwe obubonero, okuteekeseza ddala mu nkola ensoma ey’esigamiziddwa ku busobozi eya Competence based mu n’ebirala.

 

Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Dr. JC Muyingo abadde omugenyi omukulu asiimye enteekateeka eno n’agamba nti minisitule y’ebyenjigiriza ejja giwagira okusobola okuteekateeka abasawo abalungi Uganda be yeetaaga.  

 

Yagambye nti omusingi gw’okutendeka abasawo bwe guba gunywezeddwa kijja kuyamba eggwanga ku kukendeeza ku ssente ezoononebwa mu kujjanjaba endwadde ezandyewaliddwa Ssentebe wa UHPAB Dr. Alfred Driwale agamba bwe tutereeza ebyobulamu eggwanga lyakweyongera okusikiriza abantu abava ebweru okujja mu Uganda okufuna obujjanjabi.

 

Yagambye nti essaawa eno Uganda eyingiza obukadde bwa ddoola 26 nga buva mu bantu abava mu mawanga amalala abajja okufuna obujjanjabi wano buli mwaka.

Tags:
Amawulire