EKITONGOLE kya KCCA kyanjudde empaka z’okuzuula diviizoni ya Kampala esinga okubeera ennyonjo mu kaweefube gwe kiriko ow’okutumbula obuyonjo mu Bannakampala.
Yagambye nti ebimu ku bitunuuliddwa mu kuvuganya kuliko okulaba engeri gye bakwatamu kasasiro, embeera kaabuyonjo mweziri, emyala , engeri kazambi gy’akwatibwamu , embeera enguudo gye zirimu n’ebintu ebirala.
“Twagala okulaba nga ekibuga Kampala kyongera okutumbuka mu buyonjo kwe kusalwo okuzzaawo embaka zino wakati wa diviizoni 5 ezikola ekibuga okulaba esingako ku zonna kuba omwaka oguwedde Kawempe ye yasinga,” Dr Zalwango bwe yategeezezza bwe yabadde e Kansanga eggulo ku Lwomukaaga.
Yagambye nti ensangi zino abantu tebakyamala gamansa kasasiro ekiraga nti enjiri bulijjo KCCA gy’ekubiriza abantu etandise okubatuukako n’abafalaasira okwongera okumwawula n’obutamwokya kuba avaamu omukka ogw’obulabe.
Yategeezezza nti era KCCA eri mu kaweefube w’okusimba emiti mu bitundu eby’enjawulo okukuuma obutonde bw’ensi kuba emiti giyambako okufulumya empewo eyamba abantu mu kussa.