Amawulire

Baleese lipooti y’abasawo ku bavunaanibwa okukola obulumbaganyi ku Gen. Katumba Wamala

Lipooti okuva mu kkomera e Luzira Upper eyakolebwa nga September 29, 2026 esomeddwa omulamuzi Suzan Okalanyi mu kkooti egambye nti abawawaabirwa wadde abamu balina obulumi naye okutwaliza awamu bali mu mbeera nnungi okuwulira emisango egibavunaanibwa.

Baleese lipooti y’abasawo ku bavunaanibwa okukola obulumbaganyi ku Gen. Katumba Wamala
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

BALEESE lipooti y’abasawo ku bavunaanibwa okukola obulumbaganyi ku Gen. Katumba Wamala omwafiira muwala we n'omukuumi.

 

Lipooti okuva mu kkomera e Luzira Upper eyakolebwa nga September 29, 2026 esomeddwa omulamuzi Suzan Okalanyi mu kkooti egambye nti abawawaabirwa wadde abamu balina obulumi naye okutwaliza awamu bali mu mbeera nnungi okuwulira emisango egibavunaanibwa.

 

Dr. Charles Kimuli Kajoba yeekebejjezza abawawaabirwa  n’azuula nti Kagugube alina obulumi mu vviivi obulabika nga tebujja kuvaawo, Abdul Azizi Ramathan talina nsimbu nga bwe yali agamba wabula alina okusoomoozebwa mu bwongo obutajja kuggwaawo kyokka ng’embeera ye okutwaliza awamu nnungi era afuna obujjajanjabi.

 

Dr Kimuli era ayongeddeko nti Kamada Walusimbi naye alina obulumi mu kugulu okumu era bweraga omuntu bw’akukwatako nga tebujja kuvaawo ppaka lw’alifa, era bamwekebejja n’obwongo nga bulamu bulungi.

 

Omusango yafundikira nagamba nti abawawabirwa bali mu mbeera nnungi nga nabalina obulumi bafuna obujjanjabi. Kyokka kkooti eragidee abamakomera e Kigo okuleeta alipoota ku musibe Muzaifa Wampa agambye nti bamusaako ekirevu nokumukaka okugenda mu kkanisa ngate musajja musiraamu.

 

Wabula ow’amakomera ASP Paul Okello abuulidde abalamuzi nti tamanyi bwe kyajja ono okusalwako ekirevu kubanga wadde abasibe baabasalako enviiri, naye abasiraamu tebasalibwako birevu byabwe. Okello agambye agenda kuleeta lipooti ku nsonga eyo.

 

Abawawabirwa kuliko Muhammed Kagugube, Kamada Walusimbi, Silman Kisambira, Abdulaziz Ramathan Dunku, Habib Ramathan Marjan ne Muzaifa Wampa nga bawolerezebwa Geoffrey Turyamusiima ne Lawrence Kalamu abaddewo ku Caleb Alaka ne Evans Ocheng ng’omusango guli mu kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna.

 

Gen. Katumba Wamala yakolebwako obulumbaganyi buno nga June 1, 2021 e Kisaasi Kisota Rd mu Kampala abazigu ne batta muwala we ne ddereeva we ate Katumba n’asimattuka n’ebisago eby’amaanyi.

Tags:
Amawulire
Lipooti
Basawo
kuleeta
Luzira Upper