Eyali ssentebe wa LC3 w’eggombola y’e Nakisunga asimbiddwa mu kkooti ku by’okutunda emirimu, bamusindise Luzira.

Ssekikubo (ku ddyo) ng'atudde n'omuserikale amukuuma mu kkooti.
Ono yakwatiddwa akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit ku bigambibwa nti wakati wa January ne June 2026 mu bitundu by’e Mukono eby’enjawulo yafuna ssente obukadde 38 okuva ku George William Mukasa.
Kigambibwa nti ono yali amusuubizza nti balina obusobozi okukkirizisa olukiiko olugaba emirimu ku disitulikiti y’e Mukono district Service Commission okumuwa omulimu gw’akulira eby’obujjanjabi.
Omulamuzi Christopher Opit amusomedde nti wakati wa January ne June 2026 mu bitundu by’e Mukono eby’enjawulo beenyigira mu buzzi bw’emisango okusaba ssente.
Omuwaabi wa gavumenti Stella Naamu ategeezezza nti okunonyereza kunaatera okuggwa. Ssekikubo avunaanibwa wamu ne Saadi Wataba eyali ow’ebyobujjanjabi ku disitulikiti eyo ssaako Ronald Mugera Ssaku eyali akulira eby’embeera z’abakozi ku disitulikiti kyokka bano tebaabaddewo mu kkooti omulamuzi n’alagira beeyanjule nga November 4, 2026.