OMUSAJJA agambibwa nti ali mu kibinja eky'omutawaana mu kubba n'okutulugunya abantu e Kinnawataka, Katooga , Buyinja Kitintale - Luzira, akwatiddwa poliisi.
Ono akwatiddwa mu kikwekweto ekiyodde abasoba mu 20 mu kitundu ekyo era ne babaggalira ku poliisi ya Jinja Road.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti baliko ebifo ebirala ebikoleddwa e Kasangati ne bakwata Vincent Kinobe ku bubbi bw'ente, ku ppaaka empya nayo ne bayoola abawerako ate e Nateete nayo ne bakwatayo 50.