Abatuuze b’e Bwerenga e Kawuku mu Katabi town kkanso baguddemu ekyekango oluvannyuma lw’ekkanisa ya Bro. Ronnie Makabai okugwa n’ekuba abantu.

Abamu ku bantu abakung'aanye okulaba ebigenda mu maaso

Ekkanisa eggudde
Mu kiseera kino, ASP Edith Iradukunda ategeezezza nti omuwendo gw’abantu abaakazuulwa bali 23, ku bano 9 bali mu ddwaliro ly’e Kisubi ate 14 bali mu ddwaliro lya gavumenti nga tewannazuulwa mulambo gwonna. Mu kiseera kino, ambyulensi ne biweetiiye bireetebwa okusobola okutaasa embeera.

Kkanisa bw'ebadde efaanana munda.