GAVUMENTI eri mu nteekateeka ezireeta ebyuma ebikebera DNA mu malwaliro gonna agazaalisa, okutegeera abazadde abatuufu ng’omwana yaakazaalibwa.

Pulezidenti Museveni Ng'atuuka E Sheema. Yayaniriziddwa Omumyuka Wa Sipiika Tayebwa (ku Ddyo) , Polof. Kamuntu (wakati) N'abakungu Abalala.
Kamuntu bwe yabadde ayogera, yagambye nti minisitule ye enteekateeka kuleeta byuma mu malwaliro agazaalisa, ng’omukazi oluzaala omwana, ekiddako kuba kuggyako bazadde bombi endagabutonde, okutegeera omuzadde omutuufu ow’omwana oyo.
Kino yagambye nti kyakumalawo embeera y’abasajja abeegaana abaana ne beebalama obuvunaanyizibwa, kwossa abakazi abasiba abasajja abaana, omuntu n’ateeka mu mwana ssente kyokka ne kizuuka oluvannyuma nti si wuwe.
Enteekateeka eno era Bukedde yakitegeddeko, nti erimu n’ekigendererwa eky’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka, Gavumenti ebeere ng’erina endagabutonde z’abatuuze kigyanguyize okutegeera ebikwata ku mumenyi w’amateeka abeera akwatiddwa.
Kamuntu yagambye nti bo enteekateeka bagirina, nga Palamenti ye yeetaaga okuyisa etteeka erirung’amya enteekateeka eno, okulaba ng’ekola bulungi era etuuka ku buli muntu mu ggwanga.
Bino we bijjidde, nga Bannayuganda bangi bazze balaajana olw’obulumi obuli mu kukebera DNA, naddala nga bakizudde nti abaana si baabwe. Abamu ku bantu abayise mu bulumi buno, ye Ssaalongo Kasawuli Mukasa, amanyiddwa nga Samona eyazuula nga mu baana be mulimu babiri abatali babe.
Kuno kwossa Ibrahim Musisi omutuuze w’e Mukono, eyalina kkiro eziwera 170, nga kati yasigaza magumba, oluvannyuma lwa DNA okumuggyako omwana we omu gwe yalina mu bulamu.
Eyali munnamawulire omugundiivu Mulindwa Muwonge, naye bwe yafa mu 2017, baaleeta abaana 45. Bwe baatuuka okukebera DNA, 34 be baggyako bokka, era bwe baakebera yasigazaawo 14!
Kamuntu yasabidde Mushemeza omulimu Kamuntu era mu kwogera kwe, yasabye Pulezidenti Museveni okuwa gwe yavuganya naye Polof. Elijah Mushemeza omulimu, kuba wadde yagwa mu kalulu, bingi by’asobola okuyamba eggwanga.
Pulezidenti, yeenyumirizza mu mulimu gwe yatandika edda, ogw’okusomesa abalunzi b’omu Ankole balekere awo okusengukasenguka, wabula balundire mu kifo kimu, ekivuddemu ebibala.
Abakulembeze yabasabye okunnyikiza enjiri y’okulwanyisa obwavu mu maka, nga bakolera ku ttaka ne bwe liba ttono, kuba obwavu kintu kibi nnyo, nga kye kiviiriddeko n’obutabanguko mu maka okweyongera.
Omukolo gwatandise n’okusaba okwakulembeddwa Omulabirizi wa West Ankole, Rt. Rev. Johnson Twinomujuni, ng’ayambibwako omulabirizi wa Ankole, Sheldon Mwesigwa. Ne Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu ery’e Mbarara, Lambert Beinomugisha naye yabaddewo.