Amawulire

Omubaka Opio yeeyamye okuweerera omwana w'omugenzi Charles Matovu

OMUBAKA wa Busiro South , Kenan  Opio akaabidde amaziga mu lutuula lwa palamenti bw’abadde anyumya ku ngeri gyeyajolongeddwamu ku mitimbagano oluvanyuma lw’omubaka gweyaddira mu bigere Charles Matovu okufa.

Kenan  Opio omubaka wa Busiro South
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUBAKA wa Busiro South , Kenan  Opio akaabidde amaziga mu lutuula lwa palamenti bw’abadde anyumya ku ngeri gyeyajolongeddwamu ku mitimbagano oluvanyuma lw’omubaka gweyaddira mu bigere Charles Matovu okufa.

Yatandise nakwebaza babaka banne abasobodde okwetaba mu kuziika  Matovu ku Ssande e Kungu-Lutale mu Wakiso disitulikiti.

Oluvanyuma lw’a mawulire g’okufa kwa Matovu okubuna emitimbagano  mu kiro ekyakeesa Olwokutaano wiiki ewedde , Opio yategeezezza nti kyamusukakko.

Abakozesa emitimbagano baamulumba mu ngeri esoomooza natuuka n’okwebuuza ab’obuyinza abavunaanyizibwa ku yintaneti mu ggwanga.

Obulumi yagambye nti bwamusukkako nagamba nti asobola okwetondera ababaka abamu ku nsonga gyatalambuludde kyokka nategeeza nti ssinga wabaawo omukisa ne babasibira mu kisenge kyekimu ne ‘Ssenyonyi’ tamanyi kyayinza mukolera!

Olwayogedde ekyo natandika okwoza ku munnye wabula Omumyuka wa sipiika wa palamenti , Thomas Tayebwa  n'amugumya nti kyagezaako okunnyonnyola akitegeera era kigenda kusalirwa amagezi.

Yagenze maaso n’okulambulula ku bugubi bweyayitamu okuwangula abantu 19 beyayogeddeko beyavuganya nabo mu kalulu wabula ababaka ne bamukuba olube nga bwe bagamba nti no..no..no.. ekivuunulwa nti nedda nedda nedda.

 Ekyo tekyamulobedde kugenda maaso nakukiira nsingo ababaka naddala ku ludda oluvuganya n’abasaba obutakolokota banaabwe naddala mu kaseera akazibu nga akookufiirwa.

Yawunzise yeeyamye okuweerera omu ku baana b’omugenzi Matovu okumala ebbanga lya myaka ena ekyalese ababaka nga bawuniikiridde.

Tags: