KABINEETI ng’ekubirizibwa pulezidenti Museveni esazeewo ekibangirizi Kya Constitutional square kirekebwewo kireme kuteekebwako nkulaakulana yonna.

Minisita Lumumba ng'ayogera
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku media center mu Kampala Minisita w'ebyamawulire Justine Kasule Lumumba yagambye nti tewali muntu yenna agenda kukkirizibwa kukwata ku kibangirizi kino era kyakusigala nga bwekiri .
Okusalawo kuno bakwesigamiza ku ssemateeka wa 1962 n'owa 1995 nti kuviira ddala mu ntandikwa baasalawo ekibangirizi kino kiteekebwe mu ssemateeka era kwe kukituuma ' Constitutional square ' n'olwekyo teri muntu yenna ayinza kukkirizibwa kukisaanyaawo okuleka nga wabaddewo enkyukakyuka ezikoledwa mu ssemateeka w'eggwanga.
Yalambulude nti ekibangirizi kino kitudde ku bunene bwa ' hectare 1' okuli plot 5 ,6 ne 7 nga poloti zonna zaakusigala nga bwe ziri .
Kyokka kukyabagambibwa nti balinako ' liizi Lumumba yategeezezza nti ekyo ssaabawolereza wa gavumenti y’ajja okukyanukula kuba mu kabineeti tebaakyogedeko .
Okusalawo kuno kuggyawo ekiwandiko pulezidenti Museveni kye yawandiikira minisita wa Kampala n'ebitongole ebivunaanyizibwa ng’asaba beekenneenye okusaba kw'omusuubuzi Hajji Hassan Bulwadda okw’okulaakulanya ekibangirizi kifuulibwe eky’omulembe nga kiriko wooteri , ne ssemaduuka ggagadde ssaako n'ebintu ebirala .