KABINENTI eyimirizza enteekateeka z’okuwaayo ekibangirizi kya City Square eri omusuubuzi Hajji Hassan Bulwadda okukikulaakulanya.
Lumumba ategeezezza nti bino byatukiddwako mu lutula lwa kabineeti olwatudde mu maka gw’obwapulezidenti eggulo (Mmande) olwabadde lukubirizibwa pulezidenti Museveni.
‘’Ensonga y’okuwaayo City Square okugikulakulaanya yayanjuddwa Pulezidenti Museveni eri baminisita okugukubaganyako ebirowoozo kyokka gye bagweredde nga basazeewo nti ekifo kino kisigale nga bwe kiri’’ Lumumba bwe yategeezezza.
Yagambye nti pulezidenti Museveni yalagira minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda okukwatagana ne KCCA beetegereze okusaba kwa Hajji Bulwadda oluvannyuma bamuwe lipooti.
Ekiragiro kino kyali mu bbaluwa Pulezidenti Museveni gye yawandiikira minisita Kabanda nga August 30, 2026 ng’eno yaweebwako n’omumyuka we Rt. Maj. Jessica Alupo ne katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja.
‘’Kati kino kimenyeewo ebyali mu bbaluwa pulezidenti gye yasooka okuwandikira minisita Kabanda ku nsonga zino’’ Lumba bwategeezezza City Square kifo kya kijjukizo ng’okuviira ddala 1962 era kyateekebwawo mu tteeka nga kirina ebijjukizo eby’enjawulo okuli abajjasi ba Uganda abafiira mu ssematalo wa 1945.
Yagambye nti kifo kya byafaayo ng’okusalawo kwonna okukolebwa kulina okussibwamu ekitiibwa. Bino we bijjidde nga Hajji Bulwadda yamala dda okwanjula enteekateeka y’okuzimba ekizimbe kya myaliro 13 okuli amaduuka 2,500 ssaako wooteeri ey’omulembe.
Okulaakulanya ekifo kino kubadde kutunuulidde okukyusa endabika yaakyo n’okuwa bannayuganda abasoba 30,000 emirimu ssaako ppaakingi y’emmotoka 1,500 nga kuno kw’ogatta WIFI ey’obwereere ne kalonda omulala.
Ettaka lino liweezako yiika 2.9 ng’omugagga Bulwadda mukogerako ne Bukedde agambye nti Pulezidenti Museveni muntu w’abantu era abagala nnyo nga tayinza kuwakanya kyasazeewo ku nsonga eno.
Okuva amawulire gw’okuwa omugagga Bulwadde ekifo kino bwe gatandika okusasaanira bannayuganda wabaddewo okubagana empawa mu bakulembeze ab’enjawulo ne bannakampala ng’abamu bawagira eky’okukikulakulanya ate ng’abalala bakiwakanya.