Abayambi ba kkooti basabye abalamuzi basingise abasajja basatu emisango gy’okutta Joan Namazzi Kagezi .
Muhairwe yeesigamye nnyo ku bujulizi bw’omusajja Daniel Kisekka eyali avunaanibwa n’abasatu bano kyokka ye n’akkiriza emisango era n’asalirwa emyaka 35 olwo n’afuuka omujulizi ku ludda oluwaabi n’abuulira kkooti byonna ebyaliwo.
Agambye nti oludda oluwaaabi lukakasizza waaliwo ettemu eryakolebwa mu bumenyi bw’amateeka, abaalikola baakozesa ekissi ng’eno yali mmundu ng’ate baakikola n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowozeddwako ng’era teri mulala yakola ttemu eryo wabula abawawaabirwa bennyini.
Asomedde kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna etuulako abalamuzi bana nti , oludda oluwaabi lwakakasizza nti abawawaabirwa bennyini be batta Kagezi nga n’essimu zaalondoolwa nga zaaliko mu kifo awattibwa Kagezi ku lunaku n’essaawa ettemu lwe lyaliwo.
Ono asabye abalamuzi basingise abasajja bano omusango nga bwe baavunaanibwa. Joan Kagezi yali amyuka ssaabawaabi wa gavumenti era yakubwa amasasi nga March 30, 2015 e Kiwaatule bwe yali ayimiridde okubaako by’agula n’abaana be abazigu ne bamusindirira amasasi agaamuttirawo.
Abawawaabirwa kuliko John Kibuuka, John Masajjage ne Nasur Abdullah Mugonole nga bavunaanibwa gwa butemu. Abalamuzi bawadde olwa December 4, 2026 lwe bagenda okuwa ensala yaabwe.