Amawulire

Abasajja 4 abagambibwa okutta Kagezi basimbiddwa mu kkooti

ABASAJJA bana abagambibwa okutemula eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi basimbiddwa mu kkooti e Nakawa ne basomerwa emisango egy’obutujju n’okutta omuntu, babiri ku bbo babadde baasingibwa emisango gy’obutujju n'okubbisa eryanyi.

Abamu ku basajja abali ku misango gy'okutta Joan Kagezi nga bali mu kaguli ka Kkooti e Nakawa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Edward Luyimbaazi

ABASAJJA bana abagambibwa okutemula eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi basimbiddwa mu kkooti e Nakawa ne basomerwa emisango egy’obutujju n’okutta omuntu, babiri ku bbo babadde baasingibwa emisango gy’obutujju n'okubbisa eryanyi.

Bano okuli: Daniel Kiseka Kiwanuka ow’emyaka 43 omwoki w'amanda e Nsanvu e Kayunga, John Kibuuka ne John Musajjage "Mubiru" nga bonna basibe mu kkomera e Kigo ne Nasur Abdullah Mugonole omusibe mu kkomera e Kitalya.

Abasajja bano  basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Elias Kakooza, akulira kkooti y'e Nakawa ne basomera emisango egyo era tabakkiriza kubaako kye bagyogerako kubanga mu kkooti ye babaleseeyo kubasomera busomezi misango gino  okutuusa oludda oluwaabi lwe lunamaliriza okunoonyereza kwalyo.

Abamu Ku Ku Booluganda Lwa Joan Kagezi Nga Bali Mu Kkooti E Nakawa.

Abamu Ku Ku Booluganda Lwa Joan Kagezi Nga Bali Mu Kkooti E Nakawa.

Oluvannyuma lw’okubasomera emisango egyo nga tebakkiriziddwa kubaako kye bagyogerako, omulamuzi Kakooza alagidde batwalibwe ku limanda mu kkomera okutuusa nga 20 November, 2023 okusalawo  oba basindikibwa mu Kkooti Enkulu.

Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulembeddwa, Thomas Jatiko ne Lilian Omara Alum kigambibwa nti Kisekka, Kibuuka Mugonole n’abantu abalala abatannakwatibwa nga March 30, 2015 e Kiwatule mu munisipaali y'e Nakawa e Kampala nga bakozesa ekikolwa eky'obukambwe mu bumenyi  bw'amateeka batta Joan Namazzi Kagezi  eyali omumyuka w'akulira Ssaabawaabi wa Gavumenti.

Era abasajja be bamu abo n'ekigenderwa ky'okutiisatiisa gavumenti wamu n'abantu nga bayita mu byobufuzi, ebyediini , ebyenfuna oba embeera z'abantu nga tebafudeeyo ku bulamu bw'abantu abalala  mu bugenderevu benyigira mu kikolwa ky’okutta Joan Namazzi Kagezi  eyali omumyuka waakulira Ssaabawaabi wa Gavumenti.

 

 

Tags:
abagambibwa
okutta
basimbiddwa
kkooti
Kagezi