Amawulire

OMUYAMBI ba kkooti basabye abalamuzi basingise abasajja basatu emisango gy’okutta Joan Namazzi Kagezi

OMUYAMBI ba kkooti basabye abalamuzi basingise abasajja basatu emisango gy’okutta Joan Namazzi Kagezi.

OMUYAMBI ba kkooti basabye abalamuzi basingise abasajja basatu emisango gy’okutta Joan Namazzi Kagezi
By: MARGARET ZALWANGO, Journalist @New Vision

OMUYAMBI ba kkooti basabye abalamuzi basingise abasajja basatu emisango gy’okutta Joan Namazzi Kagezi.
Joan Muhairwe bwabadde asoma engeri gyasengezeemu obujulizi okuva lweyatandika omusango agambye nti oludda oluwaabi lukakaksizza nti ddala abawawabirwa beebatta eyali amyuka omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi.

Muhairwe yeesigamye nnyo ku bujulizi bw'omusajja Daniel Kisekka eyali avunaanibwa n’abasatu bano kyokka ye nakkiriza emisango era nasalirwa emyaka 35 olwo nafuuka omujulizi ku ludda oluwaabi nabuulira kkooti byonna ebyaliwo.

Lib 8

Lib 8


Agambye nti oludda oluwaabi lukakasizza waaliwo ettemu eryakolebwa mu bumenyi bw’amateeka, abaalikola baakozesa ekissi ng’eno yali mmundu ng’ate baakikola n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowozeddwako ng’era teri mulala yakola ttemu eryo wabula abawawabirwa benyini.
Asomedde kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gwensi yonna etuulako abalamuzi bana nti , oludda oluwaabi lwakakasizza  nti abawawabi abawawabirwa bennyini beebatta Kagezi nga n’essimu zalondoolwa nga zaaliko mu kifo awattibwa Kagezi ku lunaku nessaawa ettemu lweryaliwo.


Ono asabye abalamuzi basingise abasajja bano omusango nga bwebavunaanibwa.
Joan Kagezi yali amyuka ssabawaabi wa gavumenti era  yakubwa amasasi nga March 30,2015 e Kiwatule bweyali ayimiridde okubaako byagula nabaana be abazigu nebamusindirira amasasi agaamuttirawo.
Abawawabirwa  kuliko John Kibuuka,John Masajjage ne Nasur Abdullah Mugonole nga bavunaanibwa gwa butemu.
Abalamuzi bawadde olwa devember 4,2026 lwebagenda okuwa ensala yaabwe

Tags: