OMUBAKA wa Busiro South , Kenan Opio akaabidde amaziga mu lutuula lwa palamenti bw’abadde anyumya ku ngeri gyeyajolongeddwamu ku mitimbagano oluvanyuma lw’omubaka gweyaddira mu bigere Charles Matovu okufa.
Yatandise nakwebaza babaka banne abasobodde okwetaba mu kuziika Matovu ku Ssande e Kungu-Lutale mu Wakiso disitulikiti.
Abakozesa emitimbagano baamulumba mu ngeri esoomooza natuuka n’okwebuuza ab’obuyinza abavunaanyizibwa ku yintaneti mu ggwanga.
Obulumi yagambye nti bwamusukkako nagamba nti asobola okwetondera ababaka abamu ku nsonga gyatalambuludde kyokka nategeeza nti ssinga wabaawo omukisa ne babasibira mu kisenge kyekimu ne ‘Ssenyonyi’ tamanyi kyayinza mukolera!
Yagenze maaso n’okulambulula ku bugubi bweyayitamu okuwangula abantu 19 beyayogeddeko beyavuganya nabo mu kalulu wabula ababaka ne bamukuba olube nga bwe bagamba nti no..no..no.. ekivuunulwa nti nedda nedda nedda.
Ekyo tekyamulobedde kugenda maaso nakukiira nsingo ababaka naddala ku ludda oluvuganya n’abasaba obutakolokota banaabwe naddala mu kaseera akazibu nga akookufiirwa.
Yawunzise yeeyamye okuweerera omu ku baana b’omugenzi Matovu okumala ebbanga lya myaka ena ekyalese ababaka nga bawuniikiridde.