Amawulire

Abakulira eddwaliro lya Emergency Surgical Children Hospital e Ntebe baloopedde Minisita Baryomunsi ebibasoomooza

MINISTER we by'obulamu Dr Chris Balyomunsi akyaddeko ku ddwaliro ly'abaana e Ntebe  erimanyiddwa nga Emergency Surgical Children Hospital okusobola okulaba engeri gyebatambuzaamu emirimu kwosa ne bibasomooza okusobola okubinogera eddagala . Ono watuuse yayaniriziddwa akulira eddwaliro lino Giacomo Menaldo  kwosa n'omumyuka  we Imona Boschveld  oluvanyuma n'alambuzibwa eddwaliro lino.   

Minister we byobulamu Chris Baryomunsi nga alambula eddwaliro ly'abaana  e Ntebe
By: Godfrey Ssempijja, Journalist @New Vision

MINISTER we by'obulamu Dr Chris Balyomunsi akyaddeko ku ddwaliro ly'abaana e Ntebe  erimanyiddwa nga Emergency Surgical Children Hospital okusobola okulaba engeri gyebatambuzaamu emirimu kwosa ne bibasomooza okusobola okubinogera eddagala . Ono watuuse yayaniriziddwa akulira eddwaliro lino Giacomo Menaldo  kwosa n'omumyuka  we Imona Boschveld  oluvanyuma n'alambuzibwa eddwaliro lino.

Dr Chriss Balyomunsi agambye nti eddwaliro lino ddungi nnyo kubanga lijjanjaba abaana abato abetaaga okulongoosebwa endwadde ez'enjawulo era abaana wakati we myaka 0-18 ate nga batendeka n'abasawo abakyasoma.

Baryomunsi ategeezezza nti bakwongera okukolagana n'eddwaliro lino mungeri ez'enjawuulo okulaba nga lyongera okugaziwa kubanga likyalinawo ettaka erimala n'okuwaayo ensimbi ezetaagisa.

Minister we byobulamu Chris Baryomunsi nga alambula eddwaliro ly'abaana  e Ntebe

Minister we byobulamu Chris Baryomunsi nga alambula eddwaliro ly'abaana  e Ntebe

Akulira edwaliro lino Giacomo Menaldo agambye nti basazeewo okukyaza Minister okusobola okumanya entambuza y'emirimu mu ddwaliro lino kubanga abadde tatukangawo kwosa n'omubuulira eby'okusomoozebwa ebirina okukwatibwako.

Ono agambye nti balina okusomoozebwa kw'abasawo abakugu okuba abatono nga bano bava mitala wa Mayanja naye nga kino kirina kuggwaawo nga bongera okufunawo basobola okutendekebwa mu mirimu gino .

Agambye nti balina abalwadde bangi nnyo naye abasawo abakugu kizibu era nti baagala okwongera okugaziya eddwaliro okusobola okujjanjaba abalwadde bonna kubanga mu kiseera kino bafuna abalwade  okuva ku 1200 -1600 buli  mwaka .

Asembyeyo nga agamba nti baagala okwongera okutendeka abasawo abakugu mu nddwade z'abaana abato mu ggwanga n'amawanga ga Africa .

Imona Boschveld agambye nti endwadde ze bakolako nkakali nnyo okuli abaana abatalina webafulumiza bucaafu n'endwadde endala naye n'asaba abazadde okugoberera  abasawo bye babagamba nti bavude mu ddwaliro baleme kudamu kulongoosebwa nga bizzeemu okwonooneka

Tags: