MINISTER we by'obulamu Dr Chris Balyomunsi akyaddeko ku ddwaliro ly'abaana e Ntebe erimanyiddwa nga Emergency Surgical Children Hospital okusobola okulaba engeri gyebatambuzaamu emirimu kwosa ne bibasomooza okusobola okubinogera eddagala . Ono watuuse yayaniriziddwa akulira eddwaliro lino Giacomo Menaldo kwosa n'omumyuka we Imona Boschveld oluvanyuma n'alambuzibwa eddwaliro lino.
Dr Chriss Balyomunsi agambye nti eddwaliro lino ddungi nnyo kubanga lijjanjaba abaana abato abetaaga okulongoosebwa endwadde ez'enjawulo era abaana wakati we myaka 0-18 ate nga batendeka n'abasawo abakyasoma.

Minister we byobulamu Chris Baryomunsi nga alambula eddwaliro ly'abaana e Ntebe
Akulira edwaliro lino Giacomo Menaldo agambye nti basazeewo okukyaza Minister okusobola okumanya entambuza y'emirimu mu ddwaliro lino kubanga abadde tatukangawo kwosa n'omubuulira eby'okusomoozebwa ebirina okukwatibwako.
Agambye nti balina abalwadde bangi nnyo naye abasawo abakugu kizibu era nti baagala okwongera okugaziya eddwaliro okusobola okujjanjaba abalwadde bonna kubanga mu kiseera kino bafuna abalwade okuva ku 1200 -1600 buli mwaka .
Asembyeyo nga agamba nti baagala okwongera okutendeka abasawo abakugu mu nddwade z'abaana abato mu ggwanga n'amawanga ga Africa .
Imona Boschveld agambye nti endwadde ze bakolako nkakali nnyo okuli abaana abatalina webafulumiza bucaafu n'endwadde endala naye n'asaba abazadde okugoberera abasawo bye babagamba nti bavude mu ddwaliro baleme kudamu kulongoosebwa nga bizzeemu okwonooneka