Abavubuka 200 abaamaliriza emisomo gy’ebyemikono egya Technical and Vocational Education and Training (TVET) baatendekeddwa engeri ezenjawulo mwe basobola okuyita okutandikawo bizinensi.
Omusomo ogwakulungudde ennaku essatu okuva ku October 22-24, 2026 ku Rest Gardens Hotel e Bweyogerere mu disitulikiti y’e Wakiso.

Marvin Mutebi ng'alaga banne bizinensi gy'ayagala okukola ne pulaani gy'alina
Gwategekeddwa ekitongole kya Forum for African Women Educationalists (FAWE) Uganda ate aba Uganda Rural Development and Training Institute (URDT), be baaguvujjiridde wansi w’omulamwa; From Ideas to Enterprise: Building Entrepreneurial Skills for Sustainable Businesses.
Joseph Adiama, akulira pulogulaamu mu FAWE Uganda agamba nti omusomo guno gwagendereddwaamu okubangula n’okuteekateeka abavubuka abaamaliriza emisomo gy’ebyemikono okutandikawo bizinensi eziyamba okugonjoola ebizibu ebiri mu bitundu ebyenjawulo.

Florence Aciro ayagala kukola ssomero lya byabulimi
Adiama yatadde essira ku nneeyisa n’abalabula okukwata obulungi bakasitoma nti kubanga bakola kinene mu kukuza oba okusuula bizinensi.
Marvin Mutebi 23, omu ku baatendekeddwa agamba nti kati asobola okutuukiriza ekirooto kye ekyokutandikawo kkampuni enzimbi etaasa obutonde bwensi. Mutebi yatikkirwa dipulooma mu byobuzimbi ne bizinensi ku Uganda Technical College Kichwamba era kati akola nga yinginiya.
Bwe yabadde aggalawo omusomo guno, Hon. Phyllis Chemutai ng’ono ye minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza bya pulayimale n’ebyemizannyo yeebazizza aba FAWE Uganda olw’okubangula abavubuka okwetandikirawo emirimu n’okubawaayo akasente ke basobola okukozesa nga kkapito. Agamba nti abavubuka bangi balina pulaani ennungi naye tebalina kkapito kuziteeka mu nkola.
Bano yabakubirizza okukozesa amagezi n’obuyambi bwe bafunye okutandikawo bizinensi era bazirere bulungi zireme kugwa.
“Musonde kkapito era mumukwate bulungi. Ate temupapa kuwasa ng’emirimu gyammwe teginnatereera,” bwe yabawabudde.

Abavubuka 200 baatendekeddwa
Abavubuka bano baafuna omukisa okusoma mu matendekero agenjawulo okwetooloola eggwanga wansi wa Higher Education Access Programme (HEAP) eddukanyizibwa FAWE Uganda ng’eri wamu ne MasterCard Foundation.
HEAP eyamba abayizi abali mu bwetaavu okumaliriza emisomo gyabwe egy’awaggulu naddala abawala, ababundaabunda, abaliko obulemu n’abava mu maka amawejjere. Baweebwa bbasale, ebyetaagisibwa mu ssomero n’okubudaabudibwa.
Waliwo n’abayizi abayambibwa okuyita mu Higher Education Access Certificate (HEAC) nga bano batwalibwa mu yunivaasite. Pulogulaamu eno (HEAP Phase II) yatandika mu April 2024 era abayizi 2,000 okuva mu disitulikiti 65 be baakaganyulwa. Esooka yayamba abayizi 334 okuyingira n’okumalako yunivaasite