OMUYAMBI ba kkooti basabye abalamuzi basingise abasajja basatu emisango gy’okutta Joan Namazzi Kagezi.
Joan Muhairwe bwabadde asoma engeri gyasengezeemu obujulizi okuva lweyatandika omusango agambye nti oludda oluwaabi lukakaksizza nti ddala abawawabirwa beebatta eyali amyuka omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi.

Lib 8
Ono asabye abalamuzi basingise abasajja bano omusango nga bwebavunaanibwa.
Joan Kagezi yali amyuka ssabawaabi wa gavumenti era yakubwa amasasi nga March 30,2015 e Kiwatule bweyali ayimiridde okubaako byagula nabaana be abazigu nebamusindirira amasasi agaamuttirawo.
Abawawabirwa kuliko John Kibuuka,John Masajjage ne Nasur Abdullah Mugonole nga bavunaanibwa gwa butemu.
Abalamuzi bawadde olwa devember 4,2026 lwebagenda okuwa ensala yaabwe