Amawulire

Omukungu wa KCCA akwatiddwa ku by'okubulankanya ssente ezaalina okugula eddagala mu malwaliro g'ekitongole

AKAKIIKO akalondoola enkola y'emirimu mu malwaliro ga Gavumenti akaateekebwawo pulezidenti Museveni aka state house health monitoring unit kaliko omukozi w'ekitongole kya KCCA gwe kakutte ku by'okukozesa obubi ensimbi ez'okugula eddagala mu malwaliro ga KCCA.

Omukungu wa KCCA akwatiddwa ku by'okubulankanya ssente ezaalina okugula eddagala mu malwaliro g'ekitongole
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

AKAKIIKO akalondoola enkola y'emirimu mu malwaliro ga Gavumenti akaateekebwawo pulezidenti Museveni aka state house health monitoring unit kaliko omukozi w'ekitongole kya KCCA gwe kakutte ku by'okukozesa obubi ensimbi ez'okugula eddagala mu malwaliro ga KCCA.

 

Kino kivudde ku kunoonyereza okwakoleddwa akakiiko kano ku ngeri eddagala n'ebikozesebwa mu bujjanjabi mu malwaliro ga KCCA assatu kw’ago omunaana agatwalibwa ekitongole n'ekizuulibwa nga tewali mbalirira nnambulukufu ey'obuwumbi 4.64  ezaali ez'okugula eddagala n’ebyetaagisa mu bujjanjabi

Nicholas Karija Eyakwatiddwa

Nicholas Karija Eyakwatiddwa

Okunoonyereza kwakoleddwa ku ddwaaliro lya Kisenyi Health Centre IV erisangibwa mu Kampala Central ng'eno obuwumbi 3 n'omusobyo bwazuulidwa nga tebumanyiddwako mayitire ne Kawaala Health Centre IV erisangibwa mu Lubaga eno akawumbi akasuka mu kamu tekaliiko mbalirira ne Komamboga Health centre III mu Kawempe obukadde 417 n’okusoba kigambibwa bwawuwutaanyizibwa

 

Akakiiko wano we kasinzidde ne kakwata Nicholas Karija alondoola ensaazsaanya y'ensimbi ezigula eddagala n'ebikozesebwa mu malwaliro ga KCCA

 

Dr. Warren Naamara akulira akakiiko akalondoola enkola y'emirimu mu malwaliro ga Gavumenti  yategeezezza nti akakiiko kaamukutte nga kayambibwako ab'ekitongole kya bambega ba poliisi ekya CID  era baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe

 

Dr. Naamara agambye nti akakiiko kaakizudde nti Karija yandiba nga y’abadde emabega w'okulemesa okunoonyereza okugenda mu maaso mu malwaliro ga KCCA ng’akolagana n’abagakulira okukweka obujulizi.

 

Naamara ategeezezza nti amalwaliro ga KCCA amalala ataano gagenda kunoonyerezebwako

Tags:
KCCA
Mukungu
Gavumenti
Mukugu
Misango