Amawulire

Abafumbi b’emigaati mu ggwanga balaajanidde gavumenti ku bbeeyi y’ebikozesebwa.

Abafumbi b’emigaati mu ggwanga balaajanidde gavumenti ku bbeeyi y’ebikozesebwa.

Omukyala ng'abala emigaati
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

Abafumbi b’emigaati mu ggwanga balaajanidde gavumenti ku bbeeyi y’ebikozesebwa.
ABAFUMBI b’e migaati mu ggwanga ab’eggattira mu kibiina ki Uganda Baker’s Association, balaajanidde gavumenti ku bbeeyi y’ebintu bye bakozesa naddala amafuta ga dizero ne basaba bakaasitoma babwe bagumireme emiwendo gye bongeddemuko.

Bano baasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ne bategeeza nti embeera eriwo ku miwendo gy’ebintu bye bakozesa okuli engaano n’amafuta aga dizero eri waggulu enyo ne baakanya okwongeramu katini ku miwendo gy’omugaati.

Omukyala ng'apanga emigaati

Omukyala ng'apanga emigaati


Ssentebe w’ekiibina, Canon Dr Guster Lule Ntake, yagambye nti babadde bafubye okuguma obutayongeza bbeeyi yamugaati kubanga bakimanyi embeera abantu gye bayitamu sinnyaangu naye kibatabuseeko ne bakaanya nti kabalinyiseeko ku ka beeyi katini era ne basaba abantu okubategeera.
Okusinziira ku byavudde mu lukungaana luno omugaati gwa kiro emu gwe babadde basuubuza ku 5000/-, bagusuubuza ku 5500/-, ate kasitoma mu dduuka agenda kuguliira wakati wa 6000/- ne 6500/-
Ogw’ekitundu kya kiro ogubadde gusuubuzibwa ku 2500/-, kati ku fakitole bagusuubuza 3000/- ekitegeeza nti omuli w’omugaati asembayo ku duuka agenda kubeera ng’agugulira wakati wa 3300/- ne 3500/-

Omukyala ng'abala emigaati

Omukyala ng'abala emigaati


Bagamba nti ebintu ebisinga bye bakozesa ng’engaano saako obuzibu mu kutambuza emigaati kubanga emmotoka zabwe zikozesa amafuta ga dizero nga ne mu kufumba ge bakozesa.
Wano webasinzidde ne basaba gavumenti etunule mu beeyi y’amafuta ebeere ng’ekka okusobola okusigala mu bizinensi.
Isaac Njoroge owa Jonisa bakers limited era memba w’ekibiina kino ki Uganda Baker’s Association yanyonnyode nti ebitundu 80% by’ebintu bye bakozesa mu kukola emigaati biva bweeru wa Uganda ate ddoola eri waggulu
Tags: