Amawulire

Abasuubuzi abaakosebwa amataba beeyambulidde abakungu ba Gavumenti!

ABAMU ku basuubuzi abaakosebwa amataba mu omwaka oguwedde balumbye ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja nga baagala okusisinkana abakwatibwako babannyonnyole lwaki ssente ezaabasuubuzibwa Pulezidenti Museveni omwaka oguwedde n’okutuusa kati tebannazifuna.

Abasuubuzi abaakosebwa amataba beeyambulidde abakungu ba Gavumenti!
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalist @New Vision

ABAMU ku basuubuzi abaakosebwa amataba mu omwaka oguwedde balumbye ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja nga baagala okusisinkana abakwatibwako babannyonnyole lwaki ssente ezaabasuubuzibwa Pulezidenti Museveni omwaka oguwedde n’okutuusa kati tebannazifuna.


Abasuubuzi bano baasimbudde okuliraana Palamenti eggulo ku Lwokusatu nga bakutte ebipande ne batambula nga boogera ebigambo ebibanja ssente zaabwe okutuuka mu mulyango oguyingira ofiisi ya Katikkiro wa Uganda.

Abasuubuzi Nga Beekalakaasiza Mu Maaso Ga Ofiisi Ya Katikkiro Wa Uganda

Abasuubuzi Nga Beekalakaasiza Mu Maaso Ga Ofiisi Ya Katikkiro Wa Uganda


Bwe baatuuse ku ggeeti, abaserikale abakuuma tebaabaganyizza kuyingira munda kwe kwegugunga nga babanja ssente ezaabasuubizibwa.


Wakati mu kwegugunga waliwo omukazi eyeeyambudde olugoye n’asigala mu kaleega, okulaga obutali bumativu. Omu ku baakulembeddemu okwegugunga, Herman Kavuma yagambye nti, baasisinkana Pulezidenti Museveni mu November w’omwaka oguwedde n’abasuubiza obuwumbi 20 buyambeko mu kweddaabulula eri abo abaakosebwa amataba kyokka n’okutuusa kati tebannazifuna.


Yagambye nti okuva olwo, ebitongole eby’enjawulo bizze bibawandiika era ne basuubizibwa nti bagenda kufuna ssente zaabwe naye n’okutuuka kati tebanbazifuna. Gye buvuddeko, Katikkiro Nabbanja yabategeeza nti baali bagenda kufuna ssente zaabwe mu wiiki bbiri kyokka kati ebbanga lisusse ne mu mwezi nga tebazifuna.


Shifra Namatovu nga y’omu ku beekalakaasizza yagambye nti, ekiseera ekituufu kye kino kye balina okufuniramu zaabwe kubanga beetaaga okuddamu okusuubula basobole okubaako emirimu gyebakola naddala mu kiseera kino nga Ssekukkulu esembedde.


Kyokka baabadde bakyayogera bino, poliisi okuva ku CPS n’ebasalako n’ebatwala entyagi. Waliwo abakyala babiri abaagezezzaako okulinnya bodaboosa kyokka eby’embi pikipiki n’egaana okwaka olwo omugoba waayo n’alabika ng’alinga gy’avugisa ebigere.


Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu ggwanga ekya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA), John Kabanda yavumiridde eky’abasuubuzi b’akulembera ate okulumba ofiisi ya Katikkiro wa Uganda n’agamba nti ekyo kyabadde tekyetaagisa.


Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yagambye nti mu kavuvung’ano kano abasuubuzi babiri be baakwatiddwa era nga bakuumirwa ku CPS mu Kampala.

Tags:
Bakungu
Basuubuzi
Gavumenti
Kika!
Mataba