Bya Joseph Innocent Ssenfuma
Abakungu b'akakiiko k'eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission (UHRC) nga bakulembeddwamu bakaminsona okuli Shifrah Lukwago, Hon. Crispin Kaheru ne Hon. Omara Apiita, Ag. Secretary Mr. Kamadi Byonabye nga bali wamu n'abakungu okuva mu bitongole eby'enjawulo bafundikidde okunoonyereza kwebabaddeko ku nsonga eziviirako obutabanguko omuli okulwanagana, ekibba ttaka, obufere bw'ettaka, obutakaanya n'okusika omuguwa ku ttaka lya Buganda sub-region.

Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu
Ebyavudde mu alipoota biraga nti enkaayana z'ettaka mu Buganda tezitandise kati z'atandika dda era zezaavirako n'endagaano ya 1900 eyatekawo obwananyini ku ttaka eri ab'ebyapa n'ebibanja.
Kkamisona Shifrah Lukwago agambye nti ebizuuliddwa byakubayamba okusala amagezi ku ngeri y'okumalawo obuzibu buno nga bakubiteeka mu alipoota yaabwe enesembayo