OMUGAGGA Teopista Nabbaale addukidde mu kkooti okugisaba eyimirize Bbank ya Exim okutunda ekimbe kye n’okusazaamu obuguzi bwa kkampuni ya NTAMI Investment Ltd eyakiguze ku nnyondo.
Ekizimbe kino kisangibwa ku block 244, plot 541, e Kabalagala, Kisugu mu Kampala nga kyaguliddwa kkampuni ya NTAMI investment Ltd ku buwumbi busatu Nabbaale ky’awakanya nti kyaguliddwa binusu okusinziira ku mbalirira eyakikolebwako ey’obuwumbi 14.
Nabbaale agamba nti ekizimbe kino bbanka yasooka kukibaliriramu obuwumbi 14 kkooti n’ekibalamu obuwumbi musanvu nga yeebuuza lwaki ate kyatundiddwa obuwumbi busatu bwokka.
Yategeezezza nti oluvannyuma lwa ssente ezaakibalirirwamu, yali afunye omuguzi okuva mu America ng’agenda kukigula obuwumbi 11 n’ekitundu nga n’empapula aziwaddeyo mu kkooti kyokka n’agaanibwa.
Kuno kwe yasinzidde okugamba nti wayinza okubaawo ekkobaane erikukusa kkampuni gye baagala egule sso ssi kuggyamu ssente zisasula bbanja.
Yagambye nti, singa baamukkirizza okufuna omuguzi ono, yandibadde asasula ebbanja lyabwe ery’obuwumbi 10 n’afissa nako.
Munnamateeka we, Amon Natukwasa Kayirukabi yategeezezza nti, Bbank yakozesezza lukujjukujju okukitunda ku ssente entono ekitali kya bwenkanya.
Yategeezezza nti kkooti okusaba kwabwe yakuwulidde era n’ebawa olukusa okusigala nga bakyakozesa ekizimbe kino okutuusa ng’omusango gw’okujulira gwe bassaamu guwedde.
Munnamateeka wa NTAMI Investment Ltd, Achilles Kazibwe yagambye nti ekizimbe kino kyagulibwa ku nnyondo mu September 2026, nga baakigula ku Muteesasira Associates oluvannyuma lw’okulangibwa mu mawulire nga kkampuni yaabwe y’eyawangula n’ekigula.