ABANTU 1,544 basiddwawo okuyamba ku bayizi 4,655 ab'ekibiina ekyomusanvu abalina obulemu ku mibiri gyabwe abagenda okutuula ebigezo bya PLE.
Mu kiseera kino, teri ssomero likkizibwa kuddamu kusomesa muyizi yenna ow'ekibiina ekyomusanvu okuva ku Lwokutaano lwe bamaze okubateekateeka , era oyo yenna anakwatibwa, kakumujjutuka.
Abayizi abewandiisa ,bali 920,833 ku centres 16,478 . Kuliko abayizi abawala 484, 620 ate abalenzi bali 436,213. Ku bano 53 basibe abagenda okutuulira mu kkomera e Luzira . Abayizi 576,342 bali ku nsoma ya UPE ate 344,491 b'amasomero g'obwannanyini.