Amawulire

Omuzaalisa avunaaniddwa gwa kubba ddagala

Omuzaalisa mu ddwaaliro lya Luweero Main Hospital avunaaniddwa ogw’okubba eddagala lya Gavumenti, kkooti emusindise mu kkomera e Luzira.

Omuzaalisa avunaaniddwa gwa kubba ddagala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omuzaalisa mu ddwaaliro lya Luweero Main Hospital avunaaniddwa ogw’okubba eddagala lya Gavumenti, kkooti emusindise mu kkomera e Luzira.
Irene Marion Namugabi nga musawo omuzaalisa e Luweero e yasimbiddwa mu kkooti eya Standards, Utilities and Wildlife e Makindye n’avunaanibwa okubba  n'okubeera n'eddagala lya Gavumenti.

Ono kigambibwa nti emisangoyagizza nga October 7, 2026 ku ddwaaliro lya gavumenti e Luweero bwe yasangibwa n'eddagala erya ARVs emikebe 46 egigambibwa nti yali agibbye.
Oludda oluwaabi lugamba nti Namugabi mu maka ge agasangibwa mu Ddungu Zone e Kikaya mu Kawempe yasangibwa n'eddagala ryo, paleti ya ppamba ssaako goozi ebbaasa bbiri nga ziriko laama  ya minisitule y'ebyobulamu eya Gavumenti ya Uganda n’ebigambo ebiraga nti teritundibwa.
Omulamuzi Gladys Kamasanyu ye yamusomedde emisango era  gyonna Namugabi n’agyegaana.
Omuwaabi wa Gavumenti, Martin Arinitwe yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kuwedde era Namugabi yasindikiddwa mu kkomera okutuusa nga November 10, 2026 kkooti lw’eneetandika okuwulira obujulizi.
Wadde ono yabadde aleese abamweyimirira, omulamuzi yamugambye ng’okunoonyereze
bwe kuwedde oludda oluwaabi luleete abajulizi omusango guwulirwe era lw’anaakomawo mu kkooti, lw’ajja okussaamu okusaba kw’okweyimirirwa

Tags: