Amawulire

Bannawulire ba Bukedde balondeddwa okukulembera ekibiina ekibagatta mu ggwanga lyonna

BANNAMAWULIIRE ba Bukedde ffamire balondeddwa okukulembera ekibiina ekigatta bannamawuliire bonna mu ggwanga ekya UJA era okulonda kubadde ku kitebe kya bannamawulire ekya UJA e Kawempe.

Bannawulire ba Bukedde balondeddwa okukulembera ekibiina ekibagatta mu ggwanga lyonna
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision

BANNAMAWULIIRE ba Bukedde ffamire balondeddwa okukulembera ekibiina ekigatta bannamawuliire bonna mu ggwanga ekya UJA era okulonda kubadde ku kitebe kya bannamawulire ekya UJA e Kawempe.

Abakulembeeze Ba Bannamawuliire Abaalondeddwa Nga Bali Ku Kitebe Kyabwe Ekya Uja E Kawempe.

Abakulembeeze Ba Bannamawuliire Abaalondeddwa Nga Bali Ku Kitebe Kyabwe Ekya Uja E Kawempe.

Okulonda kwakulembeddwa munnamateeka Gilbert Mboonye nga embiranyi yabadde wakati wa Kalungi Rizik ne Emmanuel Kirunda nga bonna bannamawulire ba Bukedde abaabadde bavuganya ku bwapulezidenti bwa UJA wabula oluvannyuma ne bakkaanya Kirunda abeere pulezidenti ate Kalungi abeere omumyuka we.

Simon Maseruka(simo Omunene W'ekibuga) Ng'ayogera eri Bannamawuliire Mu Kulonda Abakulembeze Baabwe

Simon Maseruka(simo Omunene W'ekibuga) Ng'ayogera eri Bannamawuliire Mu Kulonda Abakulembeze Baabwe

Be baalonze beeyamye okusoosowaza eddembe lya bannamawulire omuli okusitula embeera zaabwe mu byenfuna, eddembe lyabwe okusitulwa n'okulaba nga bafuna obulamu obweyagaza.

 

Pulezidenti wa UJA omuggya, Emmanuel Kirunda yasabye bannamawulire bonna mu ggwanga okubeera obumu era basse ebbali enjawukana zaabwe, balwanirre embeera ennungi eza bannamawulire.

 

Bannamawulire abamu abeetabye mu kulonda kuno baasabye abakulembeeze baabwe okukola buli kisoboka okwongera okbausakira basobole okusitula ebyenfuna byabwe ssaako okulaba nga bongera okubangulwa ku mitendera egy’enjawulo.

 

 

 

Tags:
Bukedde
Bannamawulire
Kirunda
Karungi Ray Rizik
Vision Group