Amawulire

Munanura addidde Otto mu ofiisi y'ekitongole ekikessi mu UPDF

Kyaddaaki Maj. Gen Oscar Munanura akwasiddwa ofiisi y’okukulira ekitongole kya majje ekikessi ng’asikidde Maj. Gen. Richard Otto.

Munanura addidde Otto mu ofiisi y'ekitongole ekikessi mu UPDF
By: Ddamba Tadeo, Journalist @New Vision

Kyaddaaki Maj. Gen Oscar Munanura akwasiddwa ofiisi y’okukulira ekitongole kya majje ekikessi ng’asikidde Maj. Gen. Richard Otto.

 

Omuduumizi w’eggye lya UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba amujjukizza okusoosowaza ebimusuubirwamu.

 

Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo nga bakulembeddwa omuduumizi wa UPDF, Gen Muhoozi Kainerugaba ng’akiikiriddwa omuduumizi w’eggye ly’okuttaka, Lt. Gen. Kayanja Muhanga.

 

Lt. Gen Kayanja asiimye Maj Gen Otto olw’ettofaali ly’akitaddeko n’amagye okutwaliza awamu. Akubirizza bannamagye okukola omulimu gwabwe n’omutima gumu era n’annyonnyola n’obukulu bw’okuwa amawulire g’ekikessi mu budde.

 

Agamba obugayaavu mu kuwaayo amawulire ekika kino kigootaanya ebikwekweto by’ekinamajje kw’ossa okussa obulamu bwa bajaasi mu bulabe.

 

Lt Gen Kayanja asoomoozezza obukulembeze obujja okusoosoowaza  era basse mu nkola ebibasuubirwamu. Maj. Gen Munanura yeebazizza omuduumizi wa UPDF olw’obwesige n’amukwasa ofiisi eno. Yeeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe bamuwadde n’obukugu.

Tags:
Amawulire
UPDF
Gen. Muhanga
Magye
Updf