POLIISI e Bugiri eriko abantu 12 b'ekutte ku bigambibwa nti baludde nga babba mmita z'amazzi, ez'amasannyalaze, waya, amataala , kkamera ne waya.

Ebimu ku byuma bye baabasanze nabyo.
Mu November ono gwe tulimu, obuuma obutangira eggulu obuwerako, buzze bubbibwa okuva e Imuli Government P/S ne mu maka g'abatuuze ku kyalo Musongora , kkamera ya poliisi yabbibwa okuva mu kitundu kye kimu wamu ne waya zaazo eziyita mu ttaka.

Kkufulu ze baabakwata nabo.
Ekibinja kye kimu, kigambibwa era, kyawamba omuvubuka ne bamussa mu kampu yaabwe gye baatuuma Basement, ne bamutulugunya ennaku bbiri ne bamubbako ssente era nga poliisi ye yamununula.
Abaakwatiddwa 12 baggyiddwa mu bifo okuli Soweto ganga ku kyalo Kikabala mu ggombolola y'e Kapyanga, B13 ganga e Busanzi cell , Obama Street ganga mu Bus Park Katawa cell, 360 ganga ku kyalo Musongora e Nkusi, Namakoko Ganga e Namakoko ne sitoowa ssatu eza scrap e Bugiri.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti baliko ebintu ebiwerako bye bazudde, ebimu ku bizze bibbibwa omuli eby’amazzi, ebyamasannyalaze enjaga n'ebirala.