BANNABIZINENSI n'abakugu ab'enjawulo, bongedde okukoowoola abantu okweyiwa mu bungi mu kizimbe kya Enterprise Uganda e Butabika mu Kampala, mu musomo gwa Pakasa Forum ogw’omulundi ogw’e 12.
Gutegekebwa Vision Group era ng'abaguvujjiridde kuliko aba Centenary Bank, aba Pearl Bank, minisitule y'ebyensimbi, ekitongole ekiwooza emisolo ekya URA, Global Entrepreneur Network n'abalala.
Barbara Ofwono omutandisi w'amasomero ga Victorious Educational Services, ayogedde engeri gye yatandikamu n'okugenda ng'agaziya bizinensi eno ey’amasomero, ng'agamba nti, obumalirivu, okuwuliriza n'okulabira ku bantu ab'enjawulo, kimuyambye nnyo.
Akoowodde abantu okujja mu bungi mu musomo guno, era n'abasaba okwogala ennyo bye bakola nga beggyamu okwenyooma.
Ate ye Yiga Zinunula ssentebe wa Global Entrepreneurship Network, agambye nti abanaagwetabamu, baakuyiga ebintu bingi naddala ebikwata ku bizinensi.