Amawulire

Abaana b'essomero 4 bafudde oluvannyuma lw'okulya emicungwa egigambibwa okubaamu obutwal!

Abaana bana abawala ku ssomero lya Taaliim Primary School and Quoran Memoriataion centre e Kisaasi, bafudde olw'ebigambibwa nti balidde obutwa.

Abaana b'essomero 4 bafudde oluvannyuma lw'okulya emicungwa egigambibwa okubaamu obutwal!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abaana bana abawala ku ssomero lya Taaliim Primary School and Quoran Memoriataion centre e Kisaasi, bafudde olw'ebigambibwa nti balidde obutwa.

 

Essomero lino, lisangibwa Kikulu zzooni e Kikaaya mu Kawempe era nga poliisi e Kira eri mu kunoonyereza.

 

Abasatu ku baana, kigambibwa baafiridde waabwe ate omulala afiiridde Kasangati mu ddwaaliro.

 

Ku bano, kuliko Mariam Nakitende 11 P4, Rahim Kiruta 11, P5, Nusufa Nassuuna 11, P4 ne Failuzi Nabeta 9 abadde mu P3.

 

Kigambibwa nti baalidde micungwa egiyinza okuba nga gyabaddemu obutwa ne bafa.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala agambye nti emirambo giri ggwanika e Mulago okugyekebejja okuzuula ekituufu ekivuddeko okufa kwabwe.

Tags:
Micungwa
Ssomero
Kulya
Baana 4