Amawulire

Abasuubuzi abasoba mu 200 basenguddwa

ABASUUBUZI b’ebibala abasoba mu 200 ababadde bakolera okumpi ne ppaaka ya Gwanda, bakyusiddwa ne baweebwa ekifo ekipya.

Abasuubuzi nga balaga emidaala gyabwe emipya.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI b’ebibala abasoba mu 200 ababadde bakolera okumpi ne ppaaka ya Gwanda, bakyusiddwa ne baweebwa ekifo ekipya.
Abasuubuzi bano baali bakkirizibwa okukola akatale ne bakatuuma Kisenyi Mango Traders Market ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa ku ttaka ly’omugagga John Bosco Muwonge.

Ku Mmande ya wiiki eno, baakyusiddwa ne batwalibwa okuliraana Ekkanisa y’Abakristaayo emabega w’ekizimbe kya Ovino.
Abasuubuzi bano batunda bibala omuli; emiyembe, wootameroni, emicungwa, obutunda, ennaanansi n’ebirala era Bannakampala bangi abaagala okugula ebibala ku ssente gye bagenda ne bagula ku bbeeyi ensaamusaamu.
Okutandikawo akatale kano baali bakolera ku kkubo ku katale k’e Nakasero n’abamu ku nguudo ne basaba Bosco Muwonge ekibangirizi kye yali tannaba kutandika kukozesa n’abakkiriza okukolerawo era babaddebamazeewo emyaka egisoba mu munaana ng’ekifo baakifuula katale.
Ssentebe w’abasuubuzi bano, Mustafa Ssajjabi yagambye nti baasoose kutya olw’okukyusibwa, wabula bwe baatuuse mu kifo ekipya ate ne bakyagala nnyo era balina essuubi nti bajja kusigala nga bakola.
“Twasengudde buli kimu ate wano we batutadde wagazi twafunye n’abatunda emmere n’ebintu ebyenjawulo abaatwegasseeko kati akatale kagaziye,” Ssajjabibwe yagambye.
Yalaze ebifo by’emidaala buli omu we baabatadde nga byetadde bulungi. Waliwo we baawadde abafumba emmere, abatunda amaseppiki n’ebintu ebirala ng’akatale kagatta enguudo ssatu okutuukira ddala ku mbuzi.
Bangi ku basaabaze abagenda okulinnyira ttakisi mu Ggwanda we bayita. Ssajjabi yagambye nti ekyenjawulo kye baafunye nti mmotoka ezibatwalira emmaali n’okutikkula ebintu zirina we zisimba.
Atwala ebyokwerinda, Mulongo Kato yagambye nti abamenyi b’amateeka baabagoba mu kifo era ppaaka ezibaliraanye okuli eya Ggwanda n’eya Kisenyi Bus Terminal zonna zirina abakuuma emisana n’ekiro.
Ekifo we babadde bakolera wasituddwaawo kalina ennene egenda okukolerwamu abasuubuzi b’amaduuka abasoba mu 1,000 era okuzimba kwatandise dda.

Tags: