Amawulire

Abasomesa basabiddwa okulondoola abayizi byebakola nga tebali ku masomero.

ABASOMESA mu nsomesa  empya  eya siniya  ebangula  abayizi  okubeera  abayiiya  mu buli ngeri  eya  Competence based curriculum) basabiddwa  okulondoola  enneeyisa  y’abayizi   n’engeri gyebakolamu  ebintu  nga  tebali ku masomero.

Wano nga bafuna ebirabo
By: Samuel Balagadde, Journalist @New Vision

ABASOMESA mu nsomesa  empya  eya siniya  ebangula  abayizi  okubeera  abayiiya  mu buli ngeri  eya  Competence based curriculum) basabiddwa  okulondoola  enneeyisa  y’abayizi   n’engeri gyebakolamu  ebintu  nga  tebali ku masomero.

Omuwandiisi w’obulabirizi bw’e Mityana Rev, Canon Paul Sekweyama  yasabye abasomesa okuteekayo omwoyo okulondoola abayizi  mu maka   n’ebitundu gye babaeera  okulaba  nga balinawo enjawulo  esobola  okukyusa  abalala  okuzinsziira kw’ebyo  ebibasomesebwa. ,

“ Kyewunyisa  okusanga  omuyizi  wa siniya  ng’ayoza ebintu omuli   amasowaani ng'abyanika ku pasikalamu . Ensoma  empya  ebangula  omuyizi  okubeera  omuyiiya mu byonna ng’okuzimba  akatandaalo okwanikibwa  ebintu mu maka  lyandibadde  tteeka eri omuyizi wa siniya kuba tekyetaagisa  ssente okukakola wabula obuyiiya ,” Canon Sekweyama  bweyagambye.

Bannaddiini nga bamaze okusabira abaana

Bannaddiini nga bamaze okusabira abaana

Bino   Canon  Sekweyama  yabyogeredde  mu kkanisa  ya  All  Saints- Kitokolo mu busunnba bw’e Kyamusisi mu bulabirizi bw’e Mityana mu gombolola ye bukuya mu disitulikiti ye Kassanda ku Lwokuna ng'abayizi b’essomero  lya Kizibawo   pulayimale  91 abagenda okutuula ebigezo by’akamalirizo  bawongebwa  eri Katonda.

Ye omukulu w’essomero lino Yoweeri Ntege  yagambye  eky’abazadde  mu byalo  okwongera  okutegeera  omugaso gw’okusoma  kyongedde   ku bungi bw’abayizi mu masomero.

Ekibiina  kya  Hope for  the Needy – Uganda   HONU  ekiddukanya  essomero lino  nga liyimbibwkoa  gavumenti mu nkola ya bonna basome nate kiddukanya siniya , ettendekero ly’ebyekono , eddwaaliro  ku mutendera gwa  Health Centre  II wamu n’ekanisa y’omuluka  eya  All  Saints- Kitokolo okusobola okuzimba emyoyo gy’abayizi n’abantu mu kitundu   kyenyumiriza  mwebyo ebituukiddwaako  ebikyusizza  obulamu bw’abantu mu kitundu.

Akulira  ekibiina kino  Annette  Akankwasa  yagambye nti abayizi  bali mu kifo  kino  oluva mu pulayimale  okutuusa  webamaliriza  okusama  abamu nebatandika  okukola  okweyimireizaawo.

Akulira  okulambula amasomero  mu disitulikiti ye Kassanda Frank Lukwago  yagambye nti  okusomozesebwa kw’amasomero ga  gavementi  kukyaliwo naddala mu byalo nga kino kyekizingamya  eabayizi  nebatakola  bulungi mu bigezo ebyakamalirizo.

Yagambye nti bangi ku bazadde  tebaagala kuwa  baana baabwe mmere ku masomero abamu bwebakakibwa okuwa ssente zekyamisana nga baloopa mu bakungu ba gavumenti .

Okusabira abaana nga kuwedde

Okusabira abaana nga kuwedde

“Abasomesa  tebamala  bayizi  ate abamu ku bazadde  tebaagala kuwaayo ssente za kupangisa  basomesa  okwongereza  kw’abo ababaweebwa  gavumenti,” Lukwago bweyagabye.

Disitulikiti ye Kassanda  erimu amasomero  ga pulayimale agayambibwako gavumenti agawera 100  ate aga siniya gali 13.

Ssentebe w’;eggombolola  ye Bukuya  Gayi Asansio  yalabuddde amasomero  obutakkiriza  mazina  na nnyimba  ez;obuseegu mu masomero  nga bwekizze kirabyako awamu

Tags: