OMUTAKA w’e Makindye Ssabagabo eyagenze okukubagiza baliraanwa abaafiiriddwa ow'oluganda lwabwe ekibwatukira baamusanze afiiridde mu buliri mu wiiki emu. Okusinziira ku biriwo, kati abantu basatu be baakafa ekibwatukira ku kyalo kye kimu.

Ssanduuko Omwateekeddwa Omubiri Gwa Kaggwa
Isma Ssennyonjo omukoddomi w’omugenzi yategeezezza nti Kaggwa kati omugenzi yabadde nga tannafa yasoose kugenda ku muliraano okusuza abaafiiriddwa omuntu waabwe eyategeereseko erya Frank ng’eno yavuddeyo ku ssaawa 5:00 n’adda ewuwe okuwummulamu.

Abakungubazi abazze okuziika omugenzi. Mu ggomasi eya bbulu ye Nannyonjo, nnamwandu W'omugenzi.
Ku ssaawa 6 ez’ekiro, nnamwandu Rose Nakato Nannyonjo 61, we yalabidde ettaala mu kisenge ng’eyaka n’alagira omu ku bazzukulu okugenda okugiggyako era ono ye yabagambye nti jajja alabika yabadde afudde.
Baagenze okumukeberako nga kituufu afudde. Omugenzi yalese abaana 12 n’abazzukulu abawerako era yazikiddwa eggulo ku Lwokusatu ku kyalo Kijjukira mu disitulikiti y’e Luweero.

Abamu Ku Bamulekwa.
Jane Nansubuga omu bamulekwa yagambye nti kitaabwe abadde talina wamuluma era bwe yava ku lumbe yatuuka bulungi awaka. Yategeezezza nti kyabakubye wala okumusanga ng’afudde.
Yayongeddeko nti ekisinze okubeewuunyisa mu kitundu kye kimu ku kyalo ekyo, abantu kati basatu be baakafa ekibwatukira .