ABAMU ku bagagga bannabizinensi abagenda okusomesa mu Pakasa Forum e Butabika, bongedde okuwa obujulizi ku ngeri gye bagaggawaddemu n'okusitula bizinensi zaabwe.

Omugagga Ntake owa Ntake Bakeries y'omu ku bagenda okwogera.
Omusomo gutegekebwa Vision Group era ng' abaguvujjiridde kuliko aba Centenary Bank, aba Pearl Bank, minisitule y'ebyensimbi, ekitongole ekiwooza emisolo ekya URA, Global Entrepreneur Network n'abalala.
Yasin Katwere nnannyini kibanda ky'emmotoka ekya Success Motors e Nakawa mu Kampala, y'omu ku bagenda okusomesa era annyonnyodde ebimu ku bimuyambye okugaggawala mu bizinensi eno ey'obuwumbi obusoba mu 100.
Ayiseeyise mu bimu ku bimuyambye okukulaakulana, era n'asaba abantu okugenda mu bungi e Butabika okubannyonnyola engeri gye bakwatamu business , gye bakwatamu bakaasitooma, n'okubeera n'empisa mu ssente.
Ategeezezza nti yasomera ku yunivaasite y’e Kyambogo University gye yafunira diguli eyasooka ne yeeyongerayo ebweru w'eggwanga n'akuguka mu ( Chemical Engineering) n'akolerako mu mawanga agawera 17 n'atambulako ne mu nsi eziwera 47, kwe kufuna ekirowoozo ekitandika bizinesi 2016 ne ssente entono ze yalina nga kati yafuuka binojjo, alina abakozi abasukka mu 300.
Ye Taitus Mulinde okuva mu Enteprise Uganda , agambye nti omuntu yenna aneetaba mu musomo tagenda kusigala kye kimu.
Ate Moses Mulondo owa Vision Group annyonnyodde abantu abalala abagenda okusomesa mu musomo guno omuli Benon Lule owa Maganjo Grain Millers, wamu n'omukulu Gaster Lule Ntakke owa Ntake Bakeries .