Taata amasannyalaze gamusse ng'agezaako okutaasa muwala we gwe gaasoose okukuba ow'emyaka 9 e Iganga.
Omwana abadde agezaako okwanika engoye ku waya kyokka ng'ebaddeko amasannyalaze, ne gamukuba bw'alaajanye kitaawe n'agezaako agende amutaase, naye ne gamukuba ne gamutta.
Omwana ye atwaliddwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi era ng'okunoonyereza, kugenda mu maaso ng'omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kasadha, bw'annyonnyola.