Amawulire

Ugachick yaakuwa abawanguzi 100 enkoko za Ssekukkulu

KKAMPUNI ya Ugachick emaze emyaka 34 ng’eweereza Bannayuganda n’amawanga amalala eyongedde ebbugumu mu ‘Gabula Ssekukulu Kidoomoole’ owa Bukedde Ffamire.

Ugachick yaakuwa abawanguzi 100 enkoko za Ssekukkulu
By: Ponsiano Nsimbi, Journalist @New Vision

KKAMPUNI ya Ugachick emaze emyaka 34 ng’eweereza Bannayuganda n’amawanga amalala eyongedde ebbugumu mu ‘Gabula Ssekukulu Kidoomoole’ owa Bukedde Ffamire.

 

Kitunzi wa kkampuni eno, Tonny Kimbugwe yategeezezza nti ku mulundi guno abantu 100 abanajjuza akakonge ka Gabula Ssekukulu ak’olupapula lwa Bukedde baakusitukira mu nkoko zaabwe ez’ekkiro ebbiri. 


Yagambye nti okuddiza abawagizi baabwe nga bayita mu Bukedde yafuuka nkola yaabwe era bazze bakikola era baakusigala nga bakikola.

Kitunzi Wa Uga Chick Tonny Kimbugwe Ng'alaga Ettu Ly'enkoko Ery'okugaba.

Kitunzi Wa Uga Chick Tonny Kimbugwe Ng'alaga Ettu Ly'enkoko Ery'okugaba.

UgaChick, ekitebe kyabwe kiri Magigye mayiro 15, okuva e Kampala ku luguudo lw’e Busika nga baaluza, batundu obukoko obw’olunaku olumu okuli obw’ennyama n’amagi saako okutunda enkoko ez’okulya. 


Balina amatabi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, batunda n’emmere y’ebisolo, ebinyonyi n’ebyennyanja.

 

Mu Kampala basangibwa ku Old Kampala ku Chicken House ne mu bitundu ebyessudde Kampala okuli; Nateete, Bulenga, Bulamu, Kireka, Mukono, Mityana, Masaka, Jinja ne Mbarara. Kimbugwe agamba nti ku matabi gaabwe gonna balinayo abakugu mu by’enkoko ne kalonda omulala. 


Agamba nti balina n’emmere y’enkoko zonna okuva ku y’obukoko obw’olunaku olumu okutuuka ku nkulu. Enkoko zaabwe ez’okulya zisangibwa mu supermarket ez’enjawulo okwetooloola eggwanga mu bipimo okuva ku kkiro emu n’ekitundu okutuuka ku kkiro 5. 


‘Gabula Ssekukulu Kidoomoole’, mw’oyita okuwangula ebirabo bya Ssekukkulu ebirala okuli; Ttivvi okuva mu Star-Times, ekyapa ky’ettaka okuva mu B.H Clara Property Consultants, Horeb Service Uganda ekutwale ebweru okukuba ekyeyo ne CHINT ekuwe ebirabo.

 

Okuwangula, jjuza akakonge akafulumira mu lupapula lwa Bukedde buli lunaku ku muko ogwokubiri (guno gwennyini), bw’omala okaweereze ku kitebe kya Vision Group oba okukawa Agenti wa Bukedde akatuuse.

Tags:
Amawulire
Gabula Ssekukkulu