Amawulire

NRM etongozza okuzimba ebitebe by’ekibiina

EKIBIINA Kya NRM kirangiride enteekateeka y’okuzimba ebitebe by'ekibiina okwetooloola eggwanga nga baakutandikira mu disitulikiti 21.

NRM etongozza okuzimba ebitebe by’ekibiina
By: Jaliat Namuwaya, Journalist @New Vision

EKIBIINA Kya NRM kirangiride enteekateeka y’okuzimba ebitebe by'ekibiina okwetooloola eggwanga nga baakutandikira mu disitulikiti 21.

 

Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Richard Todwong mu lukung’aana lw'abaamawulire ku kitebe ky’ekibiina, yatongozza pulaani kwe bagenda okutambulira mu kuzimba ebitebe bino.

Tadwong Ng'ayogera Eri Abaamawulire Wiiki Ewedde.  Ku Ddyo Ye Nekesa.

Tadwong Ng'ayogera Eri Abaamawulire Wiiki Ewedde. Ku Ddyo Ye Nekesa.


Yategeezezza nti, buli kitebe kyakuwemmenta obukadde bw’ensimbi 200-250 nga bazitoola kw’ezo ze baakung’aanya mu kamyufu bwe baali beetegekera akalulu ka 2026. Okuzimba ebitebe bino kutandikidde mu Buganda e Luweero, gye baatemye evvuunike.

 

Ebitundu ebirala awagenda okuzimbibwa ebitebe kuliko; Masaka, Mityana ne Mukono sso ng’ebitebe ebirala byakuzimbibwa e Mbale, Busia, Iganga, Kapchorwa, Katakwi, Nwoya, Kotido n’awalala.

 

Mu ngeri y’emu, Todwong yatangaazizza ku by’okuzimba ekitebe ky’ekibiina ekikulu n’ategeeza nti mu bbanga eritali lya wala, nakyo bajja kukitandikako nga mu kiseera kino KCCA ekyetegereza pulaani yaabwe.


Omumyuka wa ssaabawandiisi wa NRM, Rose Namayanja yalambuludde nti ettaka lye bagenda okuzimbako ebitebe bino lyabaweebwa abantu ssekinnoomu abaagazi ba NRM, eddala ne libaweebwa abakulembeze ba disitulikiti nga kye bagenda okukola, kwe kusooka okulyetooloola okuteereza obwannannyini okwewala enkaayana mu maaso.

Tags:
Amawulire
NRM
Kibiina
Kitebe