Poliisi erabudde abantu abakwatibwa ku misango egy’enjawulo ne batwalibwa mu kaduukulu nti balina okukakasa nti ebintu byabwe nga essimu, ssente n’ebirala nti biwandikibwa mu kitabo kya poliisi.

Abaserikale okuva e Katwe ngabalaga ebitabo bya poliisi eby'enjawulo
Bategeezezza nti gwe bakutte olina eddembe okubuuza n’omanya omusango ogukukwasizza.

Abamu ku bantu abeetabye ku mukolo guno.
Ate Francis Kalanzi okuva mu kitongole kya poliisi ekya forensic ekyekenneenya ebinkumu n’awazziddwa emisango alabudde abantu obutapapa kugenda mu kifo awabeera wazziddwa omusango.
Kalanzi era agambye nti omusibe bwe bakuggyako ebinkumu togaana kubanga babeera bakung’aanya bujulizi ng’ate oluusi buyinza okwejjeereza.