Suzan Kushaba aziddwayo ku alimanda e Luzira okutuusa nga November 20 oluvannyuma lw’okuleeta abayima abatamanyikiddwa gye babeera.
Ono yateekamu okusaba kw’okweyimirira mwe yaleetera abantu basatu okumweyimirira omwali Sam Bukenya owa Ngabi Chemicals, Paddy Kawuma owa BF Suma ne Ben Sserugo ng’ono mulamu we.

Kushaba bw'abadde ava mu kaguli ka kkooti ettuntu lya leero.
Wabula omuwaabi wa gavumenti Allan Mucunguzi yavuddeyo n’awakanya okusaba kwa bano kwe baateekamu ng’agamba nti abantu bano ebbaluwa ze baateekamu okulaga gye babeera okunoonyereza kwakoleddwa ne kulaga nga bano bwe baleeta ebbaluwa ‘zebitundu gye bakolerera.
Ensonga endala zaataddemu kwe kuba ng’omuyima omulala ayitibwa Sserugo muto nnyo ku musibe era nga Kushaba ayinza okuwaganyala era n’ayongerako nti mu buwangwa kizibu ono okuba n'obuyinza ku mulamu we we yasinzidde n’ategeeza nti waakiri yandireese bba okumweyimirira.
Yasabye kkooti okugoba okusaba kw’okweyimirira era omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa n’agwongezaayo okutuusa nga November 20 mw’agenda okuweera ensala oba ng’ayimbulwa ku kakalu ka kkooti oba nedda.
Kushaba avunaanibwa emisango esatu nga kigambibwa nti wakati wa January ne October,2026 mu bitundu by’e Mukono ne Kampala ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Tiktok oguli mu mannya ga @The Investigator Ug, yaweereza obubaka obutaali butuufu ku Minisita Kabanda nga bw’ali omufere era omubbi w'ettaka.