EKITONGOLE ekivunaanyizibwa kukuwandiisa abantu mu ggwanga (NIRA) kitegeezezza nga bwekisanga akaseera akazibu okuwandiisa abantu abafudde ssaako n’abaana abazaalibwa.
Maneja w’okulondoola n’okwekenneenya mu NIRA, Stephen Robert Kasumba yategeezezza nti ng’oggyeeko okuwandiisa abantu okufuna desinte, bavunaanyizibwa okuwandiisa buli mu nnayuganda azaalibwa n’afa.
Bino abitegeezezza ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akalondoola ebyokwerinda oluvanyuma lw’okuyitibwa ne minisitule y’ensonga y’omunda mu ggwanga ebavunaanyizibwako okuwa embalirira ku nsasaanya y’ensimbi ezabaweeba mu mbalirira y’omwaka 2025/2026.
Kasumba yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga (UBOS) abantu 290,000 be bafa buli mwaka ate 1,700,000 be bazaalibwa.
Abaana abazaaliibwa balina tajeti yakuwandiisa 800,000 ne bakomekkereza nga bawandiisizza 544, 899.
Ku disitulikiti 133 gyeyagambye nti balinayo abakozi, 50 ku zo zirina omukozi omu kyokka omubaka Joseph Ssewungu (Kalungu West) yagambye nti buvunaanyizibwa bwa bwe okufuna enkola oba tekinologiya awandiisa abantu abo.
Okutuukiriza obuvunaanyizibwa yagambye kibetaagisa okuteeka abakozi baabwe ku buli ddwaliro naddala amakulu okugoberera abaana abazaalibwa n’abantu abafa