Amawulire

Don Chris bamwongeddeko emisango

NNANNYINI Skypins Tours and Travels, Christian Asiimwe 32, amanyidwa nga Don Chris buli lukya byongera kumwonoonekera.

Don Chris mu kaguli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NNANNYINI Skypins Tours and Travels, Christian Asiimwe 32, amanyidwa nga Don Chris buli lukya byongera kumwonoonekera.
Bamusomedde emisango emirala 156 era kati giweze 724 nga gyonna gya kuggya ssente ku bantu ng’abasuubizza okubatwala ku kyeyo wabula nagyo agyegaanye.

Nga November 18, 2026, Don Chris yakomezeddwaawo n’asimbibwa mu maaso g’omulamuzi Nicholas Aisu ku kkooti ya City Hall n’asomerwa emisango gino.
Mu lutuula lwa kkooti olwasembayo, Don Chris ng’ayita mu munnamateeka we, yategeeza kkooti nti amannya g’abaawawaabira omuntu waabwe agamu bagaddamu mu fayiro ez’enjawulo ekiviiriddeko emisango okubeera emingi ekiswazizza erinnya ly’omuntu we n’asaba kkooti emisango egyaddibwamu bagimuggyeko.
Era yasaba omusango lwe guddamu okuwulirwa, abawaabi bajje n’ebiboogerako, bwe balemererwa emisango gyonna gigobwe.
Mu lutuula lwa kkooti, abavunaana Don Chris tebajjumbidde kujja wabula mu kusalawo kw’omulamuzi ku nsonga eno, yategeezezza nti omuwaabi wa Gavumenti asobola okutereeza ensobi zonna ezaakolebwa mu misango gino naye tebayinza kugigoba.
Don Chris ng’ayita mu munnamateeka we yategeezezza nti waliwo omukyala mu kkooti gw’alumiriza nti tamubanja wabula yeeyambisa omutimbagano okukunga abantu abalala okujja okumulumiriza kyokkka omulamuzi yalagidde amuleke naye abeere mu kkooti.
Ezimu ku ffayiro empya ezaaleeteddwa ziraga nti, wakati wa 2023 ne 2025, Don Chris n’abalala abakyanoenyezebwa, yaggya ssente 5,200,000/- okuva ku Eron Nabaggala ng’amusuubizza okumufunira omulimu e Luxembourg. N’aggya 7,200,000/- ku Samuel Sseanyana okumutwala e Luxembourg, obukadde butaano ku Afuza Kigiiza okumutwala e Canada n’abalala bangi.
Omulamuzi yategeezezza abavunaana Don Chris okujja ku Lwokutaano okusisinkana omuwaabi wa Gavumenti, Mercy Yamangusho Khaidara ali musango gwabwe okusobola okuteesa, n’alagira akomezebwewo mu kkooti nga December 7.

Tags: