Amawulire

Bp. Jjumba ayongedde ggiya mu kulwanyisa obwavu

OMUSUMBA w’essaza ly’e Masaka, Severus Jjumba ayongedde ggiya mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu mu maka g’Abakristu, n’okukuuma obutonde ng’abavubuka be bagenda okulembera enteekateeka eno.

Ambasada Alintuma Nsambu (ku ddyo) ng’abuuza ku Bp. Jjumba.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUSUMBA w’essaza ly’e Masaka, Severus Jjumba ayongedde ggiya mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu mu maka g’Abakristu, n’okukuuma obutonde ng’abavubuka be bagenda okulembera enteekateeka eno.
Kampeyini eno eyatongozeddwa nga November 22, 2026, yaakuddukanyizibwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enkulaakulana mu ssaza ly’e Masaka, ekya Caritas Masaka Diocesan Development Organisation (MADDO). Emikolo gyabadde ku kisaawe kya Sports Arena e Kitovu mu kibuga Masaka.

Bp. Jjumba yagambye nti kampeyini eno egendereddwaamu kuzza kitiibwa kya Masaka, erimu pulojekiti ez’enjawulo, omuli okusimba emiti, okukuuma obutonde, okukyusa endowooza z’abantu, okutumbula obuyonjo mu maka, n’okulwanyisa obwavu.
Jjumba era yekkokodde abakulembeze abatalina mpisa na kigendererwa, be yagambye nti tebalina gye batwala Masaka, era Masaka si nneetegefu kufuuka jjirikiti gye basuula abakulembeze abafaanana bwe batyo.
Omubaka wa Uganda mu Algeria, Alintuma Nsambu yasabye abantu abeesenza ku ttaka lya Gavumenti okukkiriza baliveeko mu mirembe, bawe omwaganya enkulaakulana ey’amakolero egenda okuleetebwa mu Masaka, batumbule ebyobulimi, abantu abasinga bye balimu.
Nsambu era yasabye ebeebyokwerinda okwongera amaanyi mu kukuuma obutebenkevu mu Masaka, nga balwanyisa ababbi abatigomya abalimi naddala ab’emmwanyi. Yagambye nti emmwaanyi ziyambye nnyo eggwanga okuyingiza ssente, buli lwe zitwalibwa ebweru, noolwekyo kya makulu okulwana okulaba ng’ababbi babalinnya ku nfeete.
Ate ye omubaka wa Nyendo-Mukungwe, Gyaviira Lubowa Ssebina yasabye Gavumenti okulwanyisa obuzzi bw’emisango ate n’essiga eddamuzi lyongere amaanyi mu kuvunaana abamenyi b’amateeka baweebwe ebibonerezo ebikakali. Omukolo gwetabiddwaako ababaka ba Palamenti, abakulembeze ba disitulikiti e Masaka, abasuubuzi ab’amaanyi n’abakristu

Tags: