NNAMWANDU amaze emyezi 4 ng’asula wabweru ne bamulekwa alaajanidde Gavumenti okumuyamba. Madina Takuwa 58, nga nnamwandu wa Karim Kisa y’asobeddwa oluvannyuma lw’aba ffamire ya bba okumugoba mu nju n’abaana be omwenda ne basibako kkufulu.
Bino biri ku kyalo Buwamwa mu ggombolola Nawampiti mu disitulikiti y’e Luuka.
Takuwa yategeezezza Bukedde nti aba ffamire ya bba baamugoba mu nju ne batwala n’ebyalimu nga bagamba nti tebamumanyi. Bino byaliwo nga August 18, 2026 oluvannyuma lw’okusoma dduwa y’omugenzi ey’ennaku 40.
Yagambye nti abaamugoba baana ba bba abakulu b’atazaala okuli; Ramathan Meregurwa, Amina Natwoli, Hassan Luwungwe be Shaban Kisa. Takuwa yali yava mu maka gano, wabula nga yali amaze n’omugenzi ebbanga ne bazaala n’abaana mwenda.
Ennyumba mwe baamugobye eri ku ttaka lya yiika 6 ng’agamba nti bandiba nga baagala kumugoba balyeddize. Yagambye ensonga yazitwala ku poliisi e Luuka, wabula aba ffamire bwe baayitibwa ne bategeeza nti Takuwa yajja nga mukungubazi mu lumbe nga tewali nsonga lwaki alemerawo.
Yasonze ku mubaka wa Luuka South, Steven Kisa Bakubalwayo okuba emabega w’okumugobaganya ne poliisi yagaana okuyingira mu nsonga zino.
Oluvannyuma lw’okwoge-rezeganya, aba ffamire bakkirizza Takuwa n’abaana be okusula mu ffumbiro nga bwe bamaliriza ensonga ze.