BBANKA enkulu ey’eggwanga ewagidde enkolagana empya wakati wa kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN Uganda ne MOGO, kkampuni ekola ogw’okuwola amasimu ga simaati, ng’egamba nti kino kikulu nnyo mu kuggulira bannayuganda enzigi z’emikisa gy’omulembe gwa digito okuyita mu nsasula ennyangu.

Bakasitoma bajja kuba basobola okulonda okusasula buli lunaku, buli wiiki oba buli mwezi okutuusa bwe banaamalayo ebbanja ly'essimu .

Babirukamu yategeezezza nti essimu ya 'smart' tekyali ya kwegyalabya wabula kati kyafuuka kyetaago eri buli muntu kuba eyamba okuviira ddala ku mulimi.
Akulira MTN Uganda, Sylvia Mulinge, yagambye nti enkolagana eno eraga obumalirivu bwe balina obw'okutuusa eby’enfuna bya digito ku buli Munnayuganda.

Akulira kkampuni ya Mogo Africa, Tomas Sudnius,, yagambye nti mu mwaka gumu n’ekitundu bayambye abantu abasukka mu kakadde kamu mu Buvanjuba bwa Africa okufuna amasimu ag’omulembe mu nkola eya kibanja mpola.
Tomas mumativu nti nga buli Munnayuganda yeeyunze ku digito nga yeeyambisa essimu ya 'smaret' kyakuyambako nnyo n'okwongera enkulaakulana y'eggwanga.